SHAKIB Lutaaya, abadde bba Zari Hassan akubye omuyimbi Munnakenya mu bikonde n’amuleka mu kkubiro.
Olulwana luno lwabaddewo ku Lwomukaaga, bwe yalwanaganye n’omuyimbi Arrowbwoy mu kikonde ekyategekeddwa e Kenya. Mu laawundi eyookubiri, Shakib mwe yakubidde Arrowbwoy ebikonde musosola ndaggu, omuyimbi Arrowbwoy n’agwa ku ttaka n’alaajana.
Abamu ku baabaddewo bakira bassaawo giraasi abateeremu nga tabawuuna era ogumu, yaguyiiridde ku minywanye gye gye yabadde nabo. Gye buvuddeko, Zari yassa obubaka ku mukutu gwe nga bw’ayawukanye ne Shakib.