Omuyimbi Zafaran yeevuma endongo. Josephine Nakyoonyi, amanyiddwa nga Zafaran endongo etandise okumuwunyira ziizi.
Ono mu kiwandiiko kye yateeka ku mutimbagano yalaga nga bw’atalina buzibu era ayawukanye n’ekibiina kino mu mutima omulungi.
Wabula ebyaddiride oluvanyuma lw’okuvaayo abamuli okumpi bagamba baamwennyamiza era yejjusa ekyamutwala mu kibiina ekyo.
Anti bano bamugambye bw’aba waakugenda buli kimu ky’atajja nakyo akireke okugeza nga emikutu gy’omutimbagano kw’ossa n’ennyimba zonna.
Mbu era wano we yavudde okugamba nga bw’atakyayimba nnyimba za ‘CD’ kati ali nnyo mu kye bayita ‘Live Band’
Waliwo n’agatambula nti n’erinnya lya ‘Zafaran’ nalyo ayolekedde okulyeggyako yeetuume eddala okusinziira ku ndagaano gye yali yakola n’aba Swangz Avenue.