AFRIGO Band, y’esikidde Jose Chameleone eyabadde agenda okuyimba mu kivvulu ekimu e Bungereza wabula n’akisazaamu.
Omutegesi w’ekivvulu kino amanyiddwa nga Richmond Promoz agamba nti Chamilli bwe yakivuddeemu, n’akakasa Afrigo Band okugenda okuyimba era ekivvulu kyakubaawo ku nkomerero y’omwezi guno ku New Ham Leisure Centre e Bungereza.