OMUKAZI AKOLA, BBA YANDIMUWADDE KU SSENTE EZ’OKUSSAAKO MU NSAWO?

NAZZIKUNO, ng’omukazi bw’afumbirwa, abeera wakan’avunaanyizibwa okulabirira omwami we n’abaana baabwe be baba bazadde. Wabula omulembe gwakyuka era abakyala abafumbo, abasinga bakola nga n’abaami bwe bakola.

Abaagalana mu kusoberwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

NAZZIKUNO, ng’omukazi bw’afumbirwa, abeera wakan’avunaanyizibwa okulabirira omwami we n’abaana baabwe be baba bazadde. Wabula omulembe gwakyuka era abakyala abafumbo, abasinga bakola nga n’abaami bwe bakola.
Kyokka abasajja abamu beemulugunya nti tebalaba ku ssente bakyala baabwe ze bakola
n’abakyala ne beewozaako nti ezaabwe ze bakola ziba za kikazi era abamu batuuka n’okusaba abasajja, babongereyo ku ssente ze bassa mu nsawo. Naye nga ddala omukyala omufumbo bw’aba akola, omwami we  yandimuwaddeyo ku ssente z’ateekeko mu nsawo ye ng’omukyala?
Ruth Naamala, abuulirira abaagalana ng’asinziira e Kanyanya mu Kampala agamba nti
kituufu omukyala ne bw’aba  akola omusajja alina okumuwaayo ku ssente kubanga:
1. Abakyala balabankana mu bintu bingi bye baba beetaaga okwetuusaako naye nga tebajja kubigamba baami baabwe.
Bw’oba ssente tozimuwa ng’ate alaba okola era ozirina, akitwala nti tomwagala era olina abalala b’oziwa.
2. Omusajja okukuuma mukyala wo olina okuyiga okumuwanga ssente kuba ate bw’ozimuwa azikozesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’enjawulo okugeza; okwongera ssente mu bizinensi ye, kugula eby’awaka by’oba toguze n’okwefaako ng’omukyala era kino kimukuuma obutalabankana.
3. Omukyala ayinza okuba ng’akola kyokka emirimu giyinza obutatambula bulungi
era n’atafuna wabula bw’aba n’omwami amuwaayo amanya nti gy’ali era ajja kumuwaayo, abeera mugumu. Kyokka bw’oba tomuwa n’afuna okusoomoozebwa kwonna tayinza kukulowoozaako nti ojja kumutaasa era ayinza okusala amagezi amalala ate ekiyinza obutaba kirungi mu bufumbo bwammwe
4. Omwami ne bw’oba ng’omanyi nti mukyala wo alina bizinensi ey’amaanyi eyingiza ssente, olina okumuwaayo okutuukiriza eby’awaka kuba buli ayinza obutazikusaba buli kadde.
5. Omukyala bw’aba n’omusajja amuwa ssente abeera mumativu kuba bingi abakazi bye batuukiriza mu maka oluusi abasajja bye batafaako.
6. Omusajja bw’oba owaayo mukyala wo ssente takuyisaamu maaso naye oluusi abeesamba okuwaayo bakyala baabwe ssente, abamu tebabalabawo kuba bakimanya nti ne bw’onookaaba ekizibu, tojja kumuwa ssente kukola by’ayagala. Omwami ne bw’oba wakolera mukyala wo bizinensi, togiringiriza mpozzi ng’olinamu omukozi gw’oyagala okumanya engeri gy’atambuzaamu emirimu.
Fred Yiga, agamba nti: Nze bwe
nkola ssente ne nfunamu eziwera, ng’omukyala wange alina ky’ayagala mmuwa ku ssente ne bw’aba nga naye akola. Bw’oba wawasa omukyala, buba buvunaanyizibwa bwo okumuwangayo ku ssente.
Naye n’abakyala bakimanye, nti bwe baba bakola, balina okuyamba ku baami baabwe. Olunaku bwe lukya ng’omwami talinaamu ate nga ggwe omukazi okola ng’olinamu, kya buntu okuyamba ku munno. Naye abakyala abamu bwe bafuna ku ssente embeera zaabwe zikyukaN’ekirala, abakyala bwe bafunamu ku ssente basuula obuvunaanyizibwa bwabwe awaka, eyali akutegekera amazzi ag’okunaaba, atuuka ekiseera nga takyakikola
nga n’okukujjulira emmere ng’okomyewo, ayinza okukiraba ng’ekizibu ennyo.
KYA BUTONDE OMUKYALA OKUWEEBWA
Getrude Ssebanenya, omutuuze w’e Kanyanya agamba nti omukyala yatondebwa kuweebwa era mu kyasa kino, ssente zisanyusa nnyo abakyala nga ne bw’aba akola, ng’omusajja amuwadde ku z’akola, alina eddaala ery’enjawulo kw’akussa. Omusajja bw’awa ku mukyala ssente kirina engeri gye kimuzzaamu amaanyi ng’alaba omwami we
amufaako n’okumwagala.
Ssebanenya ayongerako nti waliwo abakyala abaagala ennyo ebintu ebirungi nga tayinza kuyita ku kagoye oba akagatto akalungi, obuwoowo obw’enjawulo nga tabuguze. Buli lw’omuwa ku ssent  n’azissa mu ssente, zikola ku bintu ebyo nga tazze mu kukutawaanya ng’akukubira amasimu abikusabe. Getrude Ssebanenya Fred Yiga Getrude Ssebanenya ayongerako nti obukodo bubuza obwagazi wabula ssente erina engeri gy’ebulinnyisa era waliwo abaami abagulira bakyala baabwe buli kimu naye nga talina wadde ekikumi ky’amuwa. Kino abakyala tebakyagala aba ayagala omuweeyo ku
ssente nga ky’anaayagala akyetuusaako era bw’omutambuliza mu bulamu bw’obutamuwa, abamu tebaba na ssanyu mu bufumbo.