KIGAMBO kukwana kikaluba ate bwe kituuka ku muwala nga y’ayagala okusonseka omulenzi gw’asiimye obugambo, gujabagira!
N’omuyimbi Mariam Ndagire yakikubamu akayimba nti; “Mwabitandika bubi abaatusooka, nandikimugambye…” ng’alaga obuzito omukyala bwe yeetikka, okwatula engeri gy’awuliramu eri omusajja gwe yeegombye.
Wabula mulimu abakyala abeevaamu ne beetandikira abasajja ne babeesabira obufumbo. Omukugu mu nsonga z’amaka n’okubuulirira abafumbo, Edith Mukisa agamba nti tekirinaamu kabi konna kuba kizze kikolebwa okuva edda lwakuba nti okwawukanako n’omusajja, omukyala talina kukikola butereevu. “Abaana abawala baagendanga e mugga, naye nga bapima obudde bwe bamanyi nti n’abalenzi bwe banaagenderamu okukima amazzi, era nga bambalam engoye eziggyayo obubina n’ennywanto z’amabeere gaabwe,” Mukisa bwe yategeezezza ng’akkaatiriza ensonga y’abawala okwetega nga bwe yava edda.
ENGERI OMUKYALA GY’OTUUSA OBUBAKA ERI OMUSAJJA GWE WEEGOMBYE
‘TOLEMERAKO KUFUUKA KISEKERERWA
Wabula Mukisa awabula nti omukyala bwe weetega mu ngeri yonna gy’osobodde, naye ng’omusajja gw’osika tammuka, mute okwewala okutyobooka. Mu ngeri y’emu ne bw’omwetega n’akkiriza mangu, olina okusooka ne weefumiitiriza nga bwe weebuuza, lwaki akkiriza mangu, bulijjo abadde takulaba era lwaki abadde takukwana? Noolwekyo, olina okwekaliriza ebikolwa bye olabe oba anaasigala ng’akola bye bimu n’amaanyi n’obwagazi bwe bumu okumala ebbanga eryegasa
EBIREETEDDE ABAKYALA ABEEKWANIRA ABASAJJA OKWEYONGERA
Abawala okulwawo okufumbirwa: Abakaziabamu mu myaka gyabwe egy’ekivubuka, abasajja bwe babakwana bagoba bagobe, wabula akaseera bwe kayitawo ne balaba nga
bakuliridde ne bapakuka okunoonya abasajja ekivaamu nga batandika n’okubeekwanira.