Ssenga

Bawala bange mukomye okweyombyayombya

BAWALA bange mukendeeze okuyomba, okuvuma n’okubeera  n’entondo. Bw’oba oyagala okusigala ng’abantu bakolagana naawe olina emize gy’olina okuvaako. Muwala, mu kuyomba olinamu diguli, oba wasoma kuyomba nange akuzaala simanyi. Oyinza otya okuyomba okuva ku makya, omwami n’akomawo awaka era n’oddamu okuyomba.

Ssenga wa Bukedde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BAWALA bange mukendeeze okuyomba, okuvuma n’okubeera  n’entondo. Bw’oba oyagala okusigala ng’abantu bakolagana naawe olina emize gy’olina okuvaako. Muwala, mu kuyomba olinamu diguli, oba wasoma kuyomba nange akuzaala simanyi. Oyinza otya okuyomba okuva ku makya, omwami n’akomawo awaka era n’oddamu okuyomba. Eky’okuvuma nakyo okikola, n’ovuma omuntu buli kintu kibi. Mu maka, eby’okuvuma n’okuyomba tolina kubisussa. Buli muntu anyiiga era kya butonde okuyombamu nga munno alina ky’akunyiizizza. Naye ekitegeeza nti olina kumala olunaku lulamba ng’oyomba.
Ate ebikuyombya bitono ddala. Omwami waffe obutagula majaani oba omunnyo kikuyombya  olunaku lwonna. Kyokka olina akasente akasobola okugul amajaani oba omunnyo.

Tokimanyi nti obuntu obutono ng’omunnyo n’amajaani, omukyala yenna omutegeevu tasobola kusaba mwami we ssente kubigula.
 Era omusajja bw’agaana okugula omunnyo n’amajaani kyokka ng’olina akasente k’ofissa obeera mukyala muyombi ddala.
Ovuma buli kiramu ky’olaba onoobeera n’ani ku nsi kuno. Abantu b’ewaffe baakwetamwa lwa mize egyo. Tokimanyi nti buli muntu  yeetaaga munne ku nsi kuno.
Abantu batandika dda okukwewala.  Kati n’abaami tebakyakusobola olw’akamwa ko akavaamu ebigambo ebitayita mu kamwa.Ebigambo ebiwemula n’obiyisa mu kwamwa ate ng’oli muntu mukulu, mwana wange oswaza. Kuba mwanyinaze yali mugagga era wakulira mu maka agalimu buli kimu, oduula okufa obufi. Oba olina lwakib osalawo okubeera omufumbo? Lwaki mwami waffe omusabiriza ssente? Ddayo ewa kitaawo alina  ssente. Mwana wange akamwa olina okuyiga okukafuga. Kati omusajja yakukooye lwa kuvuma kuyomba na kuduula.  Ennaku zino abantu bangi balina omuze gw’okuvuma, kuwemula, kuyomba n’ebirala. Obwo si buntubulamu era tebulaga nti bugunjufu. Abantu bwe  balaba ng’olina empisa ezitali za mu bantu bakwewala. Ogenda okulaba ng’osigadde wekka. Fuga akamwa ko

Tags: