Abavuzi ba bodaboda ababadde abakambwe bataayizza omusajja gwe bateeberezza okuba ng'aludde ng'ababbako ppikippiki ne bamukuba ne bamutta.
Bino bibadde ku kyalo Butambuza mu ggombolola y'e Nyimbwa e Luweero, aba bodaboda bwe bagobye Fazil Otembi 43, okuva ku mmayiro 21 e Bombo ne bamuttira mu kifo ekyo.
Bamulumiriza okubeera emabega w'obubbi bwa pikipiki era nga kigambibwa nti baludde nga bamunoonya, oluvannyuma lwa pikipiki bbiri okubbibwa e Bombo.
Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Twineamazima, ategeezezza nti ababbooda bwe bamulengedde, kwe kumusimbako nga bwe bakuba enduulu n'eng’ombe , ne bamukwatira e Butambuza ne bamukuba ne bamutta.
Agasseeko nti omulambo bagututte mu ggwanika ly'e ddwaaliro e Luweero, ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.