Vidiyo

Poliisi efulumizza amannya g'abaalidde ennyama ku lumbe ne bazimba ne bafa

Kino kiddiridde ekirwadde ekitannamanyika okutta abantu bana mu bitundu by'e Muddala, Kyakabikwa ne Kyabigondo mu ggombolola y'e Lwamaggwa e Rakai.

Poliisi efulumizza amannya g'abaalidde ennyama ku lumbe ne bazimba ne bafa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI efulumizza amannya g'abantu abagambibwa okufa obulwadde obutannamanyika e Rakai.

Kino kiddiridde ekirwadde ekitannamanyika okutta abantu bana mu bitundu by'e Muddala, Kyakabikwa ne Kyabigondo mu ggombolola y'e Lwamaggwa e Rakai.

Abantu bana okuli Charles Bangirana, Jenipher Ntegyeriize, Christmas Behakanira n'omulala atannamanyika mannya, baafudde era ng'omu ku bano , yafiiridde mu ddwaaliro e Lyantonde ate abalala ne bafiira mu bulwaliro ku byalo.

Kigambibwa nti bonna baasoose kuzimba bifuba n'emikono era nga mu nnaku bbiri , baabadde bafudde.

Kitegeezeddwa nti baasoose kulya nnyama mu lumbe lwa Maama wa Umar . Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, agambye nti baasobodde okuggya ku bafu sampo ne zitwalibwa mu bakugu okwekebejjebwa, ng'okubuuliriza kugenda mu maaso

Tags:
Kufulumya
Poliisi
Kuzimba
Kufa
Lumbe