Akulira enzirukanya y'emirimu mu maka g'obwapulezidenti, Jane Barekye ategeezezza nti Pulezidenti agenda kwongera ensimbi mu SACCO z'amatendekero g'abavubuka okwongera okunyweza enkola y'emirimu. Kyokka abafuna ssente zino balabuddwa obutazinywamu mwenge n’okuwasaamu abakazi!