MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizanyo Jannet Kataha Museveni asiimye omuwendo gw’abaana ab’obuwala abeeyongedde okwettanira amasomo g’ebyemikono okwetoolola eggwanga lyonna.
Obubaka buno busomeddwa minisita w’ebyenjigiriza ebya waggulu, J.C Muyingo mu kufulumya ebigezo bya Uganda Business and Technical Examinations Board (UBTEB) ebyatuulibwa mu July ne August wa 2023 . Omukolo gw’okufulumya ebigezo gubadde Nakawa.
Ssaabawandiisi wa UBTEB Onesmus Oyesigye asinzidde ku mukolo n’ategeeza nga bwe baatuuza abayizi 3,051 okwetooloola eggwanga lyonna nga bano baatuulira mu bifo 36 .
Ategeezezza nti ku bayizi 3,051 abeewandiisa okutuula ebigezo bino abayizi 2,615 be baasobola okuwandiika ebigezo bino ng’abalala okulemererwa okutuula ebigezo bino kyekuusa ku butamalaayo bisale bya ssomero kw’ossa n’okukola emirimu emirala.
Ategeezezza nga abayizi ab’obuwala bwe beeyongedde okujjumbira amasomo g’ebyemikono kyokka waliwo abayizi 50 abaakwatibwa nga bakoppa ebigezo nga bano olusoma lwabwe lugenda kusazibwamu.
Minisita Janet Museveni mu bubaka bwe obumusomeddwa JC Muyiingo yeebaziza ekitongole kya UBTEB olw’ettoffaali lye batadde ku byenjiriza wamu n’ebyenfuna by’eggwanga nga bayita mu kubangula Bannayuganda okwetandikirawo emirimu era n’abasiima olw'omuwendo gwa baana abawala abajjumbidde amasomo nga gano .