Amawulire

UBTEB efulumizza ebigezo byayo ; abawala bongedde okwettanira ebyemikono

Ssaabawandiisi wa UBTEB Onesmus Oyesigye asinzidde ku mukolo n’ategeeza nga bwe baatuuza abayizi 3,051 okwetooloola eggwanga lyonna nga bano baatuulira mu bifo 36 .

UBTEB efulumizza ebigezo byayo ; abawala bongedde okwettanira ebyemikono
By: Majorine Sharon Nabasirye, Journalists @New Vision

MINISITA  w’ebyenjigiriza n’emizanyo Jannet Kataha Museveni asiimye  omuwendo gw’abaana ab’obuwala abeeyongedde okwettanira amasomo g’ebyemikono okwetoolola eggwanga lyonna.

Obubaka buno busomeddwa  minisita w’ebyenjigiriza ebya waggulu, J.C Muyingo mu kufulumya ebigezo  bya Uganda Business and Technical Examinations Board (UBTEB) ebyatuulibwa mu July ne August wa 2023 . Omukolo gw’okufulumya ebigezo gubadde Nakawa.

Ssaabawandiisi wa UBTEB Onesmus Oyesigye asinzidde ku mukolo n’ategeeza nga bwe baatuuza abayizi 3,051 okwetooloola eggwanga lyonna nga bano baatuulira mu bifo 36 .

Ategeezezza nti  ku bayizi 3,051 abeewandiisa okutuula ebigezo bino abayizi 2,615 be baasobola okuwandiika ebigezo bino ng’abalala okulemererwa okutuula ebigezo bino kyekuusa ku butamalaayo bisale bya ssomero kw’ossa n’okukola emirimu emirala.

Ategeezezza nga abayizi ab’obuwala bwe beeyongedde okujjumbira amasomo g’ebyemikono kyokka waliwo abayizi 50 abaakwatibwa nga bakoppa ebigezo nga bano olusoma lwabwe lugenda kusazibwamu.

Minisita  Janet Museveni mu bubaka bwe obumusomeddwa JC Muyiingo yeebaziza ekitongole kya UBTEB olw’ettoffaali lye batadde ku byenjiriza wamu n’ebyenfuna by’eggwanga nga bayita mu kubangula Bannayuganda okwetandikirawo emirimu era n’abasiima  olw'omuwendo gwa baana abawala abajjumbidde amasomo nga gano .

Tags:
UBTEB
Bigezo
Mawulire