SSENTEBE wa NRM mu Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, atongozza okunoonyeza pulezidenti Museveni akalulu mu Lubaga mu nkola ya nju ku nju ng'abadde n'abakulembeze ba NRM 30 aba buli kyalo.
Asoose na muluka gw'e Lubaga Omukolo gubadde ku Lubiri SS era wajjudde newabimba ng'abawagizi beenaanise emijoozi gya kyenvu egya MRM okulaga obuwagizi bwabwe.

Abawagizi ba NRM mu lubaga nga basisinkanye
Beegattiddwaako RDC w'e Lubaga Moses Ariho ng'ali wamu n'abamyuka be ne DISO wa Lubaga, nebasaba abantu okuyiira pulezidenti Museveni akalulu.
Majambere ategeezezza nti, tebali mu kusaaga ku luno beetaaga buwanguzi bwa NRM mu Lubaga era tebagenda kuttira bantu batiisatiisa ba NRM ku liiso, anakwatibwa waakumukuluggusa ppaka mu mbuga z'amateeka.
Abategeezezza nti agenda okubasakira ssente zijje mu Lubaga bafune amazzi neky'okulya banoonye akalulu nga bakuffu nti ku luno baagala okuwangula n'omuwendo ogw'amaanyi mu Lubaga era pulezidenti Museveni balina okumuwa akalulu mu bungi.
Ye RDC w'e Lubaga Ariho ategeezezza nti omulamwa gw'e gwa kuyiggira pulezidenti Museveni kalulu, nti tasobola kukkiriza kulaba ng'ekitundu kyakulembera nga RCC ng'ate kisemba mu kunoonyeza pulezidenti Museveni akalulu, n'ategeeza nti ye waali ku ground okuyamba buli awetaagisa n'ategeeza nti pulezidenti Museveni yaleeta enkola okuli emyooga ne PDM okukulaakulanya abantu, nti kale bwanadda ate kijja kusukkaawo.

Majembere ng'ayogera eri bannalubaga abawagizi ba NRM