Amawulire

BANNAKAMPALA ne Bannayuganda okutwaaliza awamu bakubiriziddwa obutatya kwambala ngoye zaabwe eziri mu langi eya kyenvu neezo eziriko ekifaananyi ky’omukulembeze we ggwanga nga batya nti bannaabwe abal

Bannakibiina kya NRM e Kawempe batongozza kampeyini ya Kkunga

Faisal Ndase ne bannakibiina kya NRM oluvannyuma lw'okutongoza Kunga e Kawempe
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

BANNAKAMPALA ne Bannayuganda okutwaaliza awamu bakubiriziddwa obutatya kwambala ngoye zaabwe eziri mu langi eya kyenvu neezo eziriko ekifaananyi ky’omukulembeze w'eggwanga nga batya nti bannaabwe abali ku ludda oluvuganya bajja ku balumbagana.

Bannakibiina kya NRM nga bawaga mu Kawempe South

Bannakibiina kya NRM nga bawaga mu Kawempe South

Okusaba kuno kwakoleddwa ekulira pulogulamu ya Youth Wealth Creation, Faisal Ndase, polugulamu y’okukwasizaako abantu abakola emirimu egya wansi ng’ewagirwa amaka g’Obwapulezidenti okuyita mu agaavunanyizibwaako Jane Barekye.

Ndase ateegezezza nti gavumenti ya NRM ekulirwa pulezidenti Museveni, yaleeta emirembe mu Uganda nga buli muntu alina eddembe okulaga kyawagira mu lujjudde n’olwekyo bannakibiina ki NRM nabo baddembe okwambala engoye za kyenvu buli kifo webaagalidde.

Bino yabyogeredde ku Klezia ya St. Peters Kanyanya, bwababadde asisinkanye abantu okuva mu Kawempe North ne Kawempe South nga bano beebamu ku baaganyulwa mu nteekateeka ya Youth Wealth Creation.

Bannakibiina kya NRM nga bawaga

Bannakibiina kya NRM nga bawaga

Mu butongole Ndase, abasiimbudde n’abakwasa fulaaga y’ekibiina okugenda okutalaaga ebyalo nga basaggulira pulezidenti Museveni akalulu era n’akuutira bano buli muntu akungeyo abantu 10 balonde Museveni olwo bo basirike kubanga obuwanguzi baba bamaze okutukako .

Ono yawabudde ekibinja kino nti bwebabeera nga bali kumulimu gw’okutambula nnyumba ku nnyumba nga bamatiza abantu bakulembeze enjiri y’okulaga abantu pulezidenti Museveni ebirungi byakoledde eggwanga lino nebyo byakyagenda okukola.

Bano basazeewo era okwekolamu SACCO era ne balonda obukulembeze bwabwe obugenda okubakulembera mu mulimu gw’okuwenja akalulu n’okutwala SACCO eno mu maaso era Godfrey Ssande Muwanguzi, yalondeddwa ku bwa ssentebe.

Abawagizi ba Pulezidenti Museveni nga bawaga oluvannyuma lw'okutongoza Kunga mu Kawempe

Abawagizi ba Pulezidenti Museveni nga bawaga oluvannyuma lw'okutongoza Kunga mu Kawempe

Muwanguzi yagambye nti Bannakawempe bangi bazze baaganyurwa mu pulogulamu za gavumenti ez’enjawulo omuli neeno eya Youth Wealth Creation yenyini nga tewali nsonga lwaki babeera tebayiggira Museveni kalulu kudda mu ntebe ayongera okubawa.

Amyuka RCC wa Kawempe, Jenifer Ssanyu Nasimbwa bano yabawabudde okunoonyereza pulezidenti Museveni akalulu nga batandiika na b'omumaka gabwe okuli abaana, abakyala n'abaami olwo balyoke bade ku beebweru.

Era abakubirizza nti ennaku z’omwezi 15 January 2026, bagende mu bungi ate balondese buvunaanyizibwa bwebamaliriza okuwa Museveni akalulu bawe ne bannakibiina kya NRM abalala