Amawulire

Majembere awandiikidde akakiiko k'ebyokulonda ku nsonga za Bobi Wine ez'okunoonya akalulu mu Lubaga nga 15. Dec

Ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, awandiikidde akakiiko keby'okulonda okubaako engeri gyekakugira abawagizi ba NUP okukola efujjo naddala wiiki ejja nga 15 Dec, 2025 akulira ekibiina Kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu lwasuubirwa okukuba kampeyini ze e Lubaga. 

Majembere n'ebbaluwa gyawandiikidde EC
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

Ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, awandiikidde akakiiko keby'okulonda okubaako engeri gyekakugira abawagizi ba NUP okukola efujjo naddala wiiki ejja nga 15 Dec, 2025 akulira ekibiina Kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu lwasuubirwa okukuba kampeyini ze e Lubaga.

Mu bbaluwa eno, Majambere gyawandiikidde akulirmAa akakiiko keby'okulonda omulamuzi Byabakama, awadde ensonga eziwerako omuli; Kyagulanyi bweyakuba kampeyini e Kawempe nti, abawagizi be baakola efujjo eritagambika omwali n'okunyagulula abantu, okutataaganya emirimu gy'abasuubuzi, ekyaviirako poliisi okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Agamba embeera eno tayagala etuukewo mu Lubaga, kubanga abantu baayo balina bingi eby'okukuuma byebafunye mu gavumenti ya NRM, tebaagala byonoonebwe lwa muntu akuba kampeyini okusaba akalulu.

Agamba afunye amawulire okuva mu nsonda eneekusifu nga ba nna NUP baatandise dda okukunga abantu okuva mu ggombolola 5 ezikola Kampala, okweyiwa e Lubaga wiiki ejja  ku lukungaana lwa Kyagulanyi, bamulabise ng'alina abantu abangi mu kitundu naye nga basombye basombe, kyagamba nti  kirabise okuvaamu akavuyo ate nga kikontana n'amateeka geby'okulonda.
 Ng'ayagala Byabakama akitangire nga bukyali.

"Tetugenda kukkiriza mize gya NUP emikyamu gyetuzze tulaba gyayise ng'akuba kampeyini ate kutuuka mu Lubaga, sigenda kubikkiriza, ye nsonga lwaki mpandiikidde Byabakama abeeko kyakola mu bwangu,  kino ekiseera kyetulimu sikyakuzannya, era omuntu azannyira mu kalulu ka Museveni njakufa naye"o Majambere bwagamba.