Omu ku bantu abagambibwa okuba aboomutawana mu kutemula n'okutta abavuzi ba bodaboda ne bazibabbako, akwatiddwa poliisi.
Bwe baatuuse e Ssumbwe, ne beefuula abaabadde bavaako nti omu kwe kumujjirayo ejjambiya n'amutema ku element nti oluvannyuma ne babulawo ne pikipiki nnamba UMA 191 DV n'essimu ye.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti , omukwate, baamukukunudde ku kyalo Kikunyu mu ggombolola y'e Kammengo mu Mpigi nga naye muvuzi wa pikipiki. Agasseeko nti mu kikwekweto kino era , bazaudde essimu ya Ssessanga.