Amawulire

Tebakwataganye mu gwa Katanga

OBUTAKWATAGANA ku ludda oluwaabi n’oluwawaabirwa buleetedde Omulamuzi ali mu musango gw’okutemula omusuubuzi Henry Katanga okugwongezaayo basooke bakkakkane.

Tebakwataganye mu gwa Katanga
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OBUTAKWATAGANA ku ludda oluwaabi n’oluwawaabirwa buleetedde Omulamuzi ali mu musango gw’okutemula omusuubuzi Henry Katanga okugwongezaayo basooke bakkakkane.
Oludda oluwawaabirwa lwaleese omujulizi owookusatu ng’omusawo w’amagumba okuva mu ddwaliro lya IHK eyajjanjaaba Molly Katanga ebisago era n’akizuula nti byamutuusibwakobwe yali yeetaasa. Omulamuzi wa kkooti enkulu ewozesa emisango gya nnaggomola, Rosette Comfort Kania y’ali mu kuwulira omusango ng’oludda oluwaabi lwe luli mu kwewozaako.

Oludda oluwawaabirwa nga lwakulembeddwa Mcdusman Kabega, Peter Kabatsi, Elson Karuhanga ne Jet Tumwebaze baaleese omujulizi owookusatu nga musawo w’amagumbaokuva mu Ddwaliro ekkulu e Mulago nga ye yeekebejja ebiwundu n’ebisago ebyatuusibwa ku Nnamwandu Molly Katanga era nga yamujjanjabira mu  ddwaliro lya IHK.
Omusawo eno gwebaagaanye okwasanguzza amannya yategeezezza nga bwe yafuna essimu n’ebiragiro okujja okujjanjaba omuntu eyali atuusiddwako obuzibu naye kye yakola.
Omusawo ono yategeezezza kkooti nga bwe yeekebejja Molly Katanga n’akizuula nga yatuusibwako ebisago ku mikono gyombi, ku ngalo, ku mutwe era n’akizuula nti ebisago bino byamutuusibwako bwe yali nga yeetaasa nga kyandiba nga kyava ku butabanguko mu maka wakati w’abaagalana ababiri. Wabula kkooti yabadde ekyagenda mu maaso ng’omujulizi ono abuuzibwa ku bifaananyi ebyakubibwa Molly Katanga oba yabirabako n’ategeeza nga ye bwe yali akola ku mulwadde n’alagira omusawo eyali amuyambako okukuba omulwadde gwe yali ajjanjaba ebifaananyi era nga abirina ne ku ssimu ye.
Yabuuziddwa oba ebifaananyiebyakubibwa ne  bifulumizibwa yabirabako wano we wavudde okusika omuguwa wakati w’oludda oluwaabi olwabaddeko Jonathan Muwaganya, SamalieWakholi ne Anna Kizza n’oludda oluwawaabirwa ekyavuddeko omulamuzi Kania okufuluma kkooti nga ayagala enjuyi zombi zisooke zikakkane era oluvannyuma kitegerekese nga omusango bwe gwayongezeddwaayo okutuusa nga June 23, 2026. Henry Katanga yafa masasi nga November 2, 2023 mu makaage agasangibwa
ku luguudo lwa Chwa 2 e Mbuya mu munisipaali y’e Nakawa mu Kampala

Tags: