Amawulire

Batuuzizza olukiiko okumalawo obutakkaanya aba NRM e Kanoni

OLUKIIKO lw'ebyokwerinda olwetabiddwaamu ba DPC , abakugu mu kunoonyereza okuva mu kitongole kya C.I.D , abalwanyisa obukenuzi okuva mu ofiisi ya Pulezidenti ba RDC , ab'akakiiko k'ebyokulonda n'abalala olunaku olwaleero lutudde bukubirire ku  ssaza e Kanoni mu disitulikiti y'e Gomba okumalawo obutakkaanya wakati w'enjuyi 2 okuli olwa NRM n'eyali yeesimbyewo ku bwannamunigina mu kuvuganya ku kifo kya ssentebe w'ekyalo ky'e Kanoni .

Abamu ku beetabye mu lukiiko lw'okumalawo obutakkaanya wakati w'abalwanira ekifo kya ssentebe w'ekyalo kya Kanoni e Gomba
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OLUKIIKO lw'ebyokwerinda olwetabidwamu ba DPC , abakugu mu kunoonyereza okuva mu kitongole kya C.I.D , abalwanyisa obukenuzi okuva mu ofiisi ya Pulezidenti ba RDC , ab'akakiiko k'ebyokulonda n'abalala olunaku olwaleero lutudde bukubirire ku  ssaza e Kanoni mu disitulikiti y'e Gomba okumalawo obutakkaanya wakati w'enjuyi 2 okuli olwa NRM n'eyali yeesimbyewo ku bwannamunigina mu kuvuganya ku kifo kya ssentebe w'ekyalo ky'e Kanoni .

Olukiiko luno lwayitiddwa omulondoozi w'emirimu gya gavumenti mu ofiisi ya pulezidenti Yiga Kisa Kyamukama era nga y'alukubiriza .

Omulondozi w'emirimu gya gavumenti mu ofiisi ya pulezidenti Yiga Kisa Kyamukama wakati ate ku mabbali ye Katwere ne Mukatuliki abalwanira ekifo Kya ssentebe w'ekyalo kya Kanoni e Gomba

Omulondozi w'emirimu gya gavumenti mu ofiisi ya pulezidenti Yiga Kisa Kyamukama wakati ate ku mabbali ye Katwere ne Mukatuliki abalwanira ekifo Kya ssentebe w'ekyalo kya Kanoni e Gomba

Ategeezezza nti yawaliriziddwa okuyita olukiiko luno n'ekigendererwa eky'okuzza emirembe n'obutebenkevu mu kitundu oluvannyuma lw'okubeera nti enjuyi zombiriri ezaavuganya mu kalulu zibadde zaasigala zeewera okwetuusaako obulabe nga buli omu agamba ye yawangula .

Mu lukiiko luno olwabadde olw'ebbugumu buli omu yaweereddwa omukisa okwewozaako okuviira ddala ku yakulemberamu okulondesa Dan Kaboggoza era ng'ono yagambye nti okulonda kwatandikira mirembe naye ate ne kufundikira mu buvuyo oluvannyuma lw'abalonzi okuva ku luyi olumu okwagala okubalibwa emirundi 2 nga bwe bamala okubalibwa ate baddamu ne basimba layini emabega era babalibwe nti era embeera eno ye yamuwalirizza okusazaamu okulonda kuno ne batalangirira muwanguzi .

Omulondozi w'emirimu gya gavumenti mu ofiisi ya pulezidenti Yiga Kisa Kyamukama bweyabadde alaga ebifaananyi ebyoleka obujulizi engeri gye baayonoonamu ebintu by'abantu mu kalulu ka ssentebe w'ekyalo Kya Kanoni e Gomba

Omulondozi w'emirimu gya gavumenti mu ofiisi ya pulezidenti Yiga Kisa Kyamukama bweyabadde alaga ebifaananyi ebyoleka obujulizi engeri gye baayonoonamu ebintu by'abantu mu kalulu ka ssentebe w'ekyalo Kya Kanoni e Gomba

Embiranyi  mu kalulu kano yali wakati wa Abel Wasswa Mukatuliki owa NRM ne John Katwere eyali yeesimbyewo ku bwannamunigina nga era bombiriri bano n'abawagizi baabwe nabo babaddemu mu lukiiko luno era ne baweebwa omukisa okwogerako nga buli omu agamba nti obuwanguzi bwali bubwe era Mukatuliki yalumiriza banne okumusombera eddogo kyokka n'abategeeza nti ye mulongo eddogo terimukwata era n'awera nti tayinza kukkiriza kuddamu kwetaba mu kalulu kano olw'ensonga nti ye yawangula dda.

Returning officer wa distulikitti y'e Gomba Ivan Munanura ye mukwewozako agambye nti emivuyo mu kalulu kano yaginnyonnyola ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga Byamukama ne basalawo okulonda kuddibwemu naye ebyembi era tetwasobola kubaawo oluvanyuma lwokutya nti era kwandi baamu emivuyo.

Mu mbeera eno, Kisakyamukama yalagidde abasinga okuleeta emivuyo mu kalulu kano bakwatibwe okwabadde n'omulondesa Daniel Kabogoza n'omutuuze eyategerekeseko erya Hassan  nga ono okusinga bamulumiriza okuddumira abakozi b'effujjo abayasa endabirwamu z'amaddirisa g'eddwaliro mukibangirizi ewali okulonda kuno.

Ono era yasabye enjuyi zombiriri ezirwanira ekifo kya ssentebe batuule batuuke ku nzikiriziganya berondemu ssentebe n'omumyuka we era buli ludda luleete abakulembeze b'akakiiko nga kino baagala we bunaatukira nga 26 omwezi guno babeere nga bamaze okukikkaanyako n'ekigendererwa eky'okwongera okuleeta emirembe mu kitundu kyabwe. 

Wabula mu kiseera kino ekyalo kino ekya Kanoni tekirina ssentebe okutuusa nga okusomoozebwa kuno kwonna kumaze okugonjolwa era obukulembeze obw'ekiseera babukwasiza akulira omuluka mu kitundu kino.

Tags:
NRM
Kanoni