Amawulire

Aba Lions Club batonedde bamuzibe emiggo 100 gibayambe mu kutambula

Bannayuganda abasoba mu bukadde 2 okuli bamuzibe n’abo abatawaanyizibwa endwadde z’amaaso bakaluubirizibwa okweyimirizaawo kubanga tebalina miggo gya bamuzibe (White canes) gisobola kubatambuza.

Aba Lions Club batonedde bamuzibe emiggo 100 gibayambe mu kutambula
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

Bannayuganda abasoba mu bukadde 2 okuli bamuzibe n’abo abatawaanyizibwa endwadde z’amaaso bakaluubirizibwa okweyimirizaawo kubanga tebalina miggo gya bamuzibe (White canes) gisobola kubatambuza.

 

Bino byayogeddwa Dennis Tumwebaze, akulira ekitongole ekigatta bamuzibe ekya Uganda National Association of the Blind (UNAB) bwe yabadde ku mukolo aba Lions Club of Kampala East kwe baaweereddeyo emiggo 100 egya bamuzibe.

 

 Omukolo gwetabiddwako bannabyanjigiriza, abasomesa n’abayizi bamuzibe 25 okuva mu masomero asatu okuli; Salaama School for the Blind, Sir Apollo Kaggwa School ne Bukoto Islamic School.

 

Tumwebaze yategeezezza nti ku muntu alaba obulungi, omuggo ogwo ayinza okugulaba nga eky’okwejalabya kyokka nga ku bamuzibe gwa mugaso nnyo kubanga gubataasa obubenje era gubooleka obuzibu obuli mu kkubo, okuli ebinnya n’awatalina kuyita ba bigere.

 

Yayongeddeko nti ekitongole kyabwe kyakawandiisa bamuzibe obukadde 3 mu disitulikiti 110 nga beeyambisa ebibiina ebigatta bamuzibe n’abantu abatawaanyizibwa endwadde z’amaaso mu disitulikiti ezo.

 

Wabula, bakizudde nti ku bantu abo, obukadde 2 beetaaga emiggo basobole okutambula babeeko emirimu gye beenyigiramu bawone okusabiriza. Era n’abaana basobole okugenda ku ssomero nga tebafunye buzibu.

 

Omuggo guno gugula emitwalo 7 n’ekitundu okudda waggulu. Tumwebaze yeebazizza aba Lions club olw’okuyambanga bamuzibe n’okubanguyiza obulamu.

 

Dorothy Ssebadduka, omukulu w’essomero lya Salaama School for the Blind mu disitulikiti y’e Mukono yakinogaanyizza nti emiggo gigenda kuyamba abaana okunyumirwa essomero kubanga bagenda kwetuusanga we baagala okuli mu bibiina, kaabuyonjo, effumbiro ne gye basula nga tebafunye buzibu.

 

Ye Amon Mugume omuwanika wa UNAB yeekokkodde abantu ababasosola n’okuboogerera amafuukuule nga bakibateekako nti be beereetera obuzibe ate abalala ne bakiteeka ku bazadde baabwe kye yagambye nti kibaluma n’okubamalako emirembe.

 

Bwe yabadde awaayo emiggo, John Kikanu Byarugaba, gavana wa disitulikiti 411B eri wansi wa Lions Club International yeebazizza aba club ya Kampala East olw’okulemera ku mulamwa gw’okuyamba bamuzibe. Yayongeddeko nti ekibiina kyabwe kikkiririza mu kukyusa obulamu bw’abo abali mu bwetaavu.

Tags:
Lions Club of Kampala
Kutambula
Bamuzibe