ABANTU babiri ,bafiiridde mu kabenje akagudde e Ndolwa ku luguudo oluva e Kamuli okudda e Bukangu mu Buyende,n'abalala ne bagendera ku bisago.
Kabaddemu loole ekika kya Tata nnamba UA 943 CU bw'etomereganye ne pikipiki nnamba UEF 183V Bajaj Boxer .
Kigambibwa nti owa boda abadde ayimiridde ku mabbali g'oluguudo okufuna amafuta nti n'oluvannyuma asseeko abasaabaze {kati abagenzi} ,wano dereeva wa loole n'emulemerera mu kkoona n'abayingirira .
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North , Samson Lubega, agambye nti abakoseddwa, batwaliddwa mu ddwaaliro lya Kidera Health centre 111 okufuna obujanjabi ng'okunoonyereza ,kugenda mu maaso.