Amawulire

Abaasazeeko omutuuze omutwe ne bakuuliita nagwo poliisi ebayigga!

Ettemu lyabaddewo ku wiikendi ku kyalo Luwala e Kammengo, abazigu bwe baalumbye Robert Kabeera ne bamusalako omutwe ne bagenda nagwo. 

Abaasazeeko omutuuze omutwe ne bakuuliita nagwo poliisi ebayigga!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Mpigi, ekyagenda mu maaso n'okuyigga omutwe gw'omusajja eyattiddwa e Kammengo.

 

Ettemu lyabaddewo ku wiikendi ku kyalo Luwala e Kammengo, abazigu bwe baalumbye Robert Kabeera ne bamusalako omutwe ne bagenda nagwo.

 

Wabula poliisi yasobodde okuzuula ekiwuduwudu ky'omugenzi ne kitwalibwa mu ggwanika e Mulago okukyekenneenya nga bwe banoonya omutwe gw'omuntu oyo.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti basuubira okukola DNA ku mugenzi okuzuula ekituufu oba nga ddala ye mugenzi ayogerwako , nga bwe bayigga abaamusse.

Tags:
Amawulire
Batuuze
Kusala
Mutwe
Poliisi
Kiwuduwudu