Amawulire

UNEB ekutte abantu abasoba mu 4 ku by'okubba n'okukoppa ebigezo bya S4

ABEEKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga nga bali wamu ne poliisi, baliko abantu be bakutte ku bigambibwa nti babadde beenyigira mu kukoppa n'okubba ebigezo bya siniya ey’okuna ebigenda mu maaso.

UNEB ekutte abantu abasoba mu 4 ku by'okubba n'okukoppa ebigezo bya S4
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABEEKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga nga bali wamu ne poliisi, baliko abantu be bakutte ku bigambibwa nti babadde beenyigira mu kukoppa n'okubba ebigezo bya siniya ey’okuna ebigenda mu maaso.

 

Nga Oct 12, abantu bana abagambibwa okwefuula bambega okuva mu ofiisi ya DISO ne PISO  baakwatiddwa ku ssomero lya Queen Of Martyrs e Kira nga bagezaako okusaba ekyojamumiro era okubabuulirizaako kugenda mu maaso.

 

Mu ngeri y'emu ate waliwo omuyizi w'essomero lya Old Kampala SSS eyasangiddwa n'essimu nga kigambibwa nti yakoppye olupapula lw'ebigezo by'okubala, era naye okubuuliriza kugenda mu maaso.

 

E Lira, abantu babiri okuli n'akulira okulambula amasomero Ronald Tom Omara ne Ambrose Okot  amanyiddwa nga William Musinguzi, baakwatiddwa ne bavunaanibwa okugezaako okugya ssente ku mukulu w'essomero. Nti era Okot yeefudde munnamateeka w'ekitongole kya UNEB.

 

Ate nga Oct 13, omuyizi omuwala ow'essomero lya Light Secondary School e Soroti, yazadde omwana omulenzi nga bali mu kigezo eky'Olungereza. Bamwanguyidde ne bamukolako era n'agenda mu maaso n'okukola ebigezo bye.

 

Omwogezi w'ekitongole kya UNEB, Jennifer Kalule - Musamba, agambye nti nga Oct 13 baakutte omukulu w'essomero lya Kazo Central S S ,Sumaiyah Nakazzi ne bamutwala ku poliisi e Lugoba lwa kugezaako kulemesa bayizi basatu okutuula ebigezo ng'ababanja ffiizi, ekitakkirizibwa.

Tags:
UNEB
Kukoppa
Bigezo
Siniya 4
Kukwata