Amawulire

Poliisi evumiridde abatuuze abaakoonye ennyumba y'omusajja agambibwa okutemula abantu

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti ebikolwa bino bikyamu ebituusibwa ku bisolo, ebirime n'ebizimbe by'abantu be bateeberezza okubeera abamenyi b'amateeka olw'obusungu.

Poliisi evumiridde abatuuze abaakoonye ennyumba y'omusajja agambibwa okutemula abantu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI evumiridde eky'abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo ne bakoona ennyumba y'omusajja agambibwa okutemula abantu abawerako n'abatta.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti ebikolwa bino bikyamu ebituusibwa ku bisolo, ebirime n'ebizimbe by'abantu be bateeberezza okubeera abamenyi b'amateeka olw'obusungu.

 

Mu kusooka Kituuma akinnyikizza nga bwe bakyagenda mu maaso n'ebikwekweto by'amanda mu bitundu gye gaagaanibwa , nga bwe yasooka okunnyonnyola ku Mmande.

Tags:
Amawulire
Batuuze
Kukoona nnyumba
Musajja
Kutemulwa