Amawulire

Abazigu basse omukazi omulambo ne baguvuunika mu kisaawe wakati

EMBEERA ya ntiisa mu  batuuze ba Ssimbwa zzooni e Kansanga mu munisipaali y'e Makindye bwe bakedde ne basanga Mutuuze munnaabwe ng'atiddwa.

Abazigu basse omukazi omulambo ne baguvuunika mu kisaawe wakati
By: Benjamin Ssemwanga, Journalist @New Vision

EMBEERA ya ntiisa mu  batuuze ba Ssimbwa zzooni e Kansanga mu munisipaali y'e Makindye bwe bakedde ne basanga Mutuuze munnaabwe ng'atiddwa.

 

Attiddwa atannaba kutegeerekeka asangiddwa nga yakubiddwa bubi nnyo era ng'avuunikiddwa mu kisaawe wakati.

 

Wabula atwala ebyokwerinda mu zzooni eno Bruno Sseremba agambye nti bakifeesi balibeera nga be baakubye omukyala ono mu kiro kubanga guno si gwe mulundi ogusoose nga basanga omuntu attiddwa.

 

Sseremba  yagammbye nti yakedde kumakya ga leero n'asanga omuntu afiriidde mu kisaawe kino kwe kwanguwa okukubira abeebyokwerinda okulaba ogubadde.

 

Poliisi n'ebitongole by'ebyokwerinda bikyagenda mu maaso n'okunonyereza ku muntu atiddwa n'okuzuula ebimukwatako.

Tags:
Amawulire
zzooni
Kansanga
Batuuze
Ntiisa