Abantu abawerako bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa mu Kampala, Wakiso ne Mukono. Bakutte ekimundu ekijingirire, enjaga ewerako, obwambe n'ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya.

Namala eyakwatiddwa!
E Kabanyolo Gayaza, poliisi ekoze ekikwekweto ku bantu abeesenza ku ttaka lya yunivaasite y'e Makerere, ne balimirako enjaga gye baguza abantu ne beenyigira mu bumenyi bw'amateeka mu kitundu. Bakutte Darren Namara, agambibwa okuba omu ku bbo akuumirwa ku poliisi e Kasangati.

Emu ku njaga eyasangiddwa ng'erimibwa mu nnimiro eno.
E Gombe mu Kabunza cell e Wakiso, baliko gwe bakutte n'ekimundu ekijingirire, buutu z'amagye n'essaati okuli ekigambo SGA, obwambe n'ebintu ebirala era akuumirwa ku poliisi e Matugga.
Mu kitundu kya Musajjalumbwa, USAFI, Owino n'awalala okwetooloola Kisenyi, bayodde 29 nga 12 ku bbo baana bato ate 17 bantu bakulu era nga batwaliddwa mu kkooti.
E Mukono, bayodde 13 ne babaggalira ku poliisi, nga bano kigambibwa benyigira mu kubba pikipiki, okuteega n'okubba amasimu n'obusawo n'okweyambisa pikipiki okunyakula ng'amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, bw'agamba.

Abamu ku baayooleddwa.