Amawulire

Poliisi ekutte difensi w'ekyalo agambibwa okukuba obubi owa bodaboda n'amutuusaako obuvune

Oweebyokwerinda ku lukiiko lwa LC1 agambibwa okukuba obubi omuvuzi wa bodaboda, poliisi emukutte.

Poliisi ekutte difensi w'ekyalo agambibwa okukuba obubi owa bodaboda n'amutuusaako obuvune
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Oweebyokwerinda ku lukiiko lwa LC1 agambibwa okukuba obubi omuvuzi wa bodaboda, poliisi emukutte.

 

Tufairi Wabomba oweebyokwerinda ku kyalo Ssumbwe e Wakiso, y'akwatiddwa ku ky'okukuba n'okutulugunya omuvuzi wa bodaboda nga Nov 18,2026.

Akatambi nga Wabomba agambibwa okuwalula n'okukuba omusajja ono, kaasaasaanidde emitimbagano era poliisi y’oku Mwenda e Bulenga n'emukwata.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala , Racheal Kawala, agambye nti ono yasoose kumutumya okuva ku stage gy'akolera era olwatuuse ku ofiisi, n'atandika okumutulugunya n'okumukuba. Okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Ssumbwe
Bulenga
Poliisi
Kukwata