OMUSAJJA agambibwa okuba ow’omutawaana mu kubba abatuuze n'okubatulugunya e Nansana, poliisi emukutte.

Ssekisonga ekyakwatiddwa.
Bamukutte atambula ne munne ku luguudo lwa Alex Kalema e Nansana mu Wakiso era mu kumwaza , kigambibwa nti bamusanze n'ebyuma ebyeyambisibwa okumenya , akambe, akasumeeni, abisumuluzo waya ne kalonda omulala.

Ebimu ku bintu bye baamukutte nabyo
Kitegeezeddwa nti ono azze akwatibwa poliisi ne bamuggalira emirundi egiwerako ku misango gye gimu. Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.