Amawulire

Poliisi y'e Busia ekyanoonyereza ku nfa y'abantu 2 ey'ekibwatukira!

Shadrach Kasheiza 26  ng'abadde awola ssente era ng'abadde abeera Bujwanga mu ggombolola y'e Buhehe e Busai, asangiddwa mu nnyumba ng'afudde naye nga kirowoozebwa nti yasoose kunywa mwenge, n'atamiira.

Poliisi y'e Busia ekyanoonyereza ku nfa y'abantu 2 ey'ekibwatukira!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI e Busia eri mu kunoonyereza ku kufa kw'abantu babiri omusajja n'omukazi mu ngeri etannamanyika.

 

Shadrach Kasheiza 26  ng'abadde awola ssente era ng'abadde abeera Bujwanga mu ggombolola y'e Buhehe e Busai, asangiddwa mu nnyumba ng'afudde naye nga kirowoozebwa nti yasoose kunywa mwenge, n'atamiira.

 

Omwogezi wa poliisi mu Bukedi South, Moses Johson Mugwe, ategeezezza nti omugenzi yasoose kulabibwako mu bbaala ya Happy Wallet era ng'eno gye baamuggye ne bamutwala awaka nga baamukwatiridde atamidde, ne basanga enkeera ng'afudde.

 

Agasseeko nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro lya Masafu, okwongera okugwekebejja.

 

Ate ku Custome Road B cell mu Eastern division e Busia , Grace Ojambo 38,  naye asangiddwa ng'afiiridde ku mabbali g'oluguudo, okusinziira ku bba Edrine Omondi 45 ,omugenzi yamulese mu nyumba n'agenda mu lumbe  (Disco Matanga) nti w'akomeddewo ,nga tali mu nnyumba.

 

Agasseeko nti oluvannyuma omulambo gwa Grace, bagusanze ku mabbali g'oluguudo era nga gutwaliddwa mu ggwanika ly'e ddwaaliro lya Busia Health Center 4 okwekebejjebwa.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kunoonya