Akulira ekkolero ly’eddagala erya Dei Biopharma Dr. Mathias Magoola ayanukudde ku agambye baakusengula abantu bokka be bakkaanyizza nabo n’asambajja n’ebyokutwala ekifo awaaziikibwa Sheikh Nuhu Muzaata batte. Bo abatuuze eggulo baatuuzizza olukiiko era kata bagajambule ssentebe waabwe gwe balumiriza okukukuta n’abaagala okubasengula.