Amawulire

Palamenti eyise omugagga Kirumira ku by’ettaka lya leerwe

OMUGAGGA Godfrey Kirumira alagiddwa okweyanjula mu Palamenti ku bigambibwa nti yezza ettaka ly’ekitongole ekivunaanyizibwa ku ggaali y’omukka.

Omugagga Godfrey Kirumira.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUGAGGA Godfrey Kirumira alagiddwa okweyanjula mu Palamenti ku bigambibwa nti yezza ettaka ly’ekitongole ekivunaanyizibwa ku ggaali y’omukka.
Ettaka lino eriweza yiika nnya liri mu kibuga Kampala mu kifo ekiyitibwa ekibangirizi kya Railway awatera okubeera emyoleso okumpi ne Victoria University.

Kiddiridde abakozi b’ekitongole ky’eggaali y’omukka nga bakulemberwa akikulira, Benon M. Kajuna okwekubira enduulu eri akakiiko ka Palamenti akalondoola eby’enguudo n’enzimba ne bategeeza ng’ettaka ly’ekitongole kino bwe lyatwalibwa mu lukujjukujju.
Akakiiko nga kakulemberwa ssentebe, Mwine Mpaka (Mbarara City South) kaayita Kirumira ajje annyonnyole ku ttaka lino nga baabadde bamusuubira okweyanjula eggulo ku Mmande wabula teyalabiseeko.
Mu nsisinkano akakiiko gye kaalimu n’abakungu okuva mu kitongole ky’eggaali y’omukka, Mpaka yategeezezza nga nabo bwe bali mu kwebuuza omuntu eyali emabega
w’okuwaayo ettaka eryo.
Kyategeerekese nti ettaka lino, Kirumira yalifunira mu kkampuni ye emu eyitibwa MS Philadelphia Trade and industry limited era nga yaliteekako n’envumbo okutangira
abayinza okulyetantala. Kigambibwa nti, eyali akulira ekitongole kya KCCA mu 2012 Jennifer Musisi, yatuukirira abaalibakulira ekitongole ky’eggaali y’omukka mu budde obwo n’abasaba ekibangirizi kino, okutegekerawo ekivvulu kya KCCA Carnival, nti olwalekulira obwa dayirekita bwa KCCA, tewali amanyi ngeri ettaka eryo gye lyafuuka erya Kirumira! Ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku kunoonyerezza ku buzzi bw’emisango ku Palamenti kyalagiddwa okufeffetta omugagga Kirumira yonna gy’ali yeeyanjule eri akakiiko leero (Lwakubiri) ku nsonga z’ettaka lino wamu n’ekitongole kya KCCA.

Tags: