Tewali akkirizibwa kusala kuyingira okuggyako oyo alina ensonga ey’esimba ennyo ate ng’alina n’bimwogerako ebizitowa.

Owa bbooda ng'agezaako okuwalira ng'omuserikale amuggyako ppiki ye
Ku nguudo okuli olwa Blue room, Namirembe road, Kafumbe Mukasa road, Mini price, Mukwano Road, Mackay Road n’endala wonna waliwo obuguwa nga tewali akkirizibwa kusala kudda mu kibuga.Ono yagezezzaako okwewozaako nga buteerere

Omukazi ng'aezaako okukunukkiriza annyonnyole omuserikale
Okusala olina okuba ng’omanyi okuwoza oba ng’ebiwandiiko byo by’olina bizitowa nnyo okumatiza abaserikale.

Abantu nga bagezaako okusala akagwa

Owa bbooda ng'agezaako okwewozaako

Wano nga ppiki omuserikale agitwala


Ono omukyala yeesottedde kagaali ke