Kitende Ewangudde Ekyokubaka, Kibuli yeetisse Table Tennis
Bya Julius Kafuluma
Mupiira (Balenzi)
Amus college 1-2 Butere Boys (KE)
Bukedea 2-0 Benjamin Mkapa (TZ)
Bawala (Semi final)
Kawempe Muslim 4-2 Arch Bishop Njenga (KE)
St. Noa Girls 1-0 Amus college
Kubaka Final
St. Mary’s Kitende 46-30 Buddo SS
Ekyokusatu
St. Noa Girls 56-44 Hamdan Islamic
Hand ball (semi finals) Bawala
Moi Kamusinga (KE) 19-15 Kawanda SS
Balenzi
Mbogo mixed 23-20 St. Joseph Kitale (KE)
Ensero 5x5 semi final (Bawala)
St. Noa Girls 62-53 Butere Girls (KE)
St. Mary’s Kitende 69-66 ESB Kamonyi (RWA)
St. Mary’s Kitende ewangudde ekikopo ky'okubaka omulundi gwayo ogwa 20 oluvannyuma lw'okukuba bajja baayo aba Buddo 46-30.
Kitende yesasulizza ku Buddo eyagikuba ne gitwalako ekikopo ky'amassomero mu Uganda omwaka guno.
St. Noah Girls ekutte ekifo kya kusatu oluvannyuma lw'okukuba Hamdan Islamic 56-44 mu mizannyo egyabadde egya tiimu za Uganda zokka.
Kibuli SS yeetisse empaka za Table Tennis mu Bawala n'abalenzi oluvannyuma lw'okukulembera ebibinja mwebabadde bazanyira mu mpaka zamassomero eza FEASSA ezikomekkerezebwa leero e kakamega, Kenya.
Uganda yakukumbye emidaali gya table tennis gyonna mu Bawala nabalenzi nga mu Bawala Mbogo college yakutte kyakubiri neddirirwa Mbogo high mu kyakusatu ate mu Balenzi Seroma yakutte kyakubiri neddirirwa Ubuntu Hill mu kyokusatu.
Mu mpaka za Hockey owabalenzi Kakungulu Memorial eya Uganda yakutte kyakusatu nga zawanguddwa St Joseph Kitale eya Kenya eyaddiriddwa Tigoi Girls nga nayo ya Kenya.
Bukedea comprehensive yeetisse empaka za Beach volleyball nga yaddiriddwa Hilton High school ate Langata High school eya Kenya n'ekwata ekifo kyakusatu.
Aziizi Busingye omuzanyi wa Bukedea comprehensive yeyalondeddwa nga omuzanyi eyasinze mu muzannyo ogwo.
Seroma yeetisse ezabawala ate Bukedea comprehensive nekwata ekifo kyakusatu, Caroline Wanjala owa Seroma yeyalondeddwa nga omuzanyi eyanywedde mu banne akendo.
Teams nga zittunka mu mpaka z'okubaka