Okuzimba ennyumba, omuntu ayita mu mitendera egy’enjawulo kyokka abamu bakaluubirirwa okukuuma ebintu mu kuzimba ne matiiriyo abeera affisseewo.
Ebimu ku bintu ebizibu okukuuma nga bisigaddewo kuliko sementi, omusenyu, amatoffaali n’amayinja wabula abakugu bagamba nti bino okuggyako sementi omuntu asobola okubikuuma okumala ekiseera.
Ying. Baker Kakembo agamba nti sementi obutayonooneka alina okuterekebwa mu kifo ekikalu obulungi ate nga tekiriimu bbugumu lisukkiridde.
Bw’aba affisseewo, alina okumutereka ku mbaawo aleme kwekwata bitole ng’asibiddwaako bulungi obutayitamu mpewo.
Amatoffaali: Gano bwe gabeera ag'ebbumba nga gagya bulungi gasobolerera ddala n’okumala emyaka 10 nga tegoonoonese mazzi kyokka bwe gaba ag’ettaka osobola okugapanga ku musingi n’ogabikako ekiveera. Olina okulaba ng’omusingi guno toguteeka mu kkubo lya mukoka.
Enkola endala ku matoffaali bwe gaba gajja bulungi oyinza okugaleka wansi. Kino kiyamba amazzi obutalegamamu. Amayinja bw’oba osobola wandibadde ogakozesa okuyiwa enkokoto ku kimu ku bisenge by’ennyumba okusinga okugalekawo.
Amayinja bwe galwa mu kifo gagendamu ettaka noolwekyo okwewala kino gakozese.Funa omukuumi omuteeke ku sayiti yo kubanga emirundi egisinga sayiti bw’ebeera ewala ne w’osula kiwa ababbi omukisa okukuyiganya.
Ying. Fred Jjuuko Wavammuno owa Jjuuko Construction Uganda Ltd agamba nti okwewala ebizibu bino olina okufuna omukugu n’akubalira ebintu ebyetaagisa mu kuzimba era awa abantu amagezi okuzimba mu mitendera okusinziira ku busobozi bwabwe.
Alina ennyumba etannagalwa wandibadde ogikubamu amabaati okutangira abamenyi b’amateeka okukoleramu ebyambyone.
Alina obusobozi zimba ekikomera oba okube ebibaati okwetooloola sayiti yo. Omusenyu oyinza okuguyoola n’ogutereka munda mu nnyumba.