Emboozi

Manya engeri gy'ozimba ekiyumba ky'embizzi ey'omulembe

ENNYUMBA mw’ogenda okulundira embizzi kikulu eri amagoba g’ogenda okufuna mu ddundiro lyo kuba ensolo ennamu obulungi kizireetera okukula obulungi.

Manya engeri gy'ozimba ekiyumba ky'embizzi ey'omulembe
By: Herbert Musoke, Journalist @New Vision

Leero mu musomo gwa Harvest Money Master Class, abakugu mu kulunda embizzi baakusomesa abalunzi n’abaagala okulunda n'enzimba y’ekiyumba ky’embizzi entuufu okuwa ensolo zo obulamu obulungi.

 

Bert De Jong omukugu mu kulunda embizzi okuva mu kkampuni ya Koudjis eya Budaaki ne Michael Buwembo owa Kafiika Feeds be basomesezza mu musomo guno ogulagiddwa obutereevu ku mikutu gya Vision Group emigattabantu okuli ttivvi, facebook, Twitter, leediyo n'ebirala. Ku ttivvi kuliko Bukedde TV ne Urban.

Joshua Kato omusunsuzi w’akatabo ka Harvest Money akafulumira mu lupapula lwa New Vision era akwataganya omusomo guno ku lwa Vision Group yategeezezza nti omulunzi n'oyo ayagala okutandika okulunda embizzi nga bizinensi tasaanidde kusubwa musomo guno.

Tags:
Emboozi