TUYINGIDDE omwaka omupya era bangi kye batandikiddeko kwe kuzuula ebyabalemesa okutuukiriza bye baali basuubira okukolera mu mwaka omukadde. Embeera y’ebyenfuna ekyali nzibu era abakugu bagamba nti na guno omwaka gwandiba omuzibu nga kyetaaga okulowooza mu ngeri ey’enjawulo okubbula ebyenfuna Rehema Namubiru, ajjanjabisa eddagala ly’ekinnansi agamba nti, olumanyo n’akasaana byakuyamba abo abaagala okwogiya ebirowoozo byabwe.
Noga ebikoola by’olumanyo obikaze okolemu ensaano oginywere ku caayi, kijja kuyamba okuwagala obwongo bwo obuteerabira