Emboozi

Ebivaako amaaso okwonooneka ne by’olina okukola okubyewala

AMAASO ga luwewere nnyo era galina okukuumibwa ennyo, kuba bw’otakikola mu lutemya lumu bwe luti, osobola okufuuka muzibe.

Ebivaako amaaso okwonooneka ne by’olina okukola okubyewala
By: Jackson Ssewannyana, Journalist @New Vision

Omukugu mu kwekebejja n’okujjanjaba amaaso ku ddwaliro e Lubaga, Dr. Denis Erima, agamba nti ekitangaala naddala ekisukkiridde kye kimu ku bitawaanya amaaso omuntu n’aggwaako emirembe.

Dr. Erima Nga Yeekebejja Amaaso G'omuntu Mu Ddwaaliro.

Dr. Erima Nga Yeekebejja Amaaso G'omuntu Mu Ddwaaliro.

Wabula, yagambye nnti teriiyo bulwadde bw’amaaso bwonna bumannyiddwa bulambalamba omuntu bw’asobola kufuna olw’ekitangaala kya kkompyuta, “laptop”, essimu oba ttivi naye ssinga otwala ebbanga ggwanvu ng’okozesa ebitu bino, kompyuta, amaaso go gakoowa bukooyi.

Amaaso bwe gakoowa, ku bantu abamu gatandika okuzaala amaziga, okubalumirira, ne batunula ng’abaakava mu ttulo, era nga abalala n’okulaba mu kaseera ako, babeera beekaka. Kiba kikwetaagisa bwetaagisa kuwummulamu ne gaddamu ne gatereera.

Laptop Gy'otuddeko Ebbanga Eppanvu Esobola okukooya amaaso go ne gavaamu amaziga.

Laptop Gy'otuddeko Ebbanga Eppanvu Esobola okukooya amaaso go ne gavaamu amaziga.

Ekitangaala ekiva mu byuma ekikozesebwa okwokya enziji z’ebyuma, amadinisa, n’ebyuma ebirala (Welding), kyabulabe nnyo eri amaaso g’omuntu. Ebyuma bino bivaamu ekitangaala eky’ekika kya “Ultra – Violet (UV), eky’obulabe.

Ekitangaala kino kireeta kkookolo ku maaso, olw’ensonga nti, kyonoona obutoffaali bw’omubiri nga n’obw’obuzimba eriiso ly’omuntu mw’obutwalidde. Ekirungi waliyo gaalubindi ezambalwa ne ziziyiza.

Ekyuma Ekikebera Amaaaso.

Ekyuma Ekikebera Amaaaso.

Endwadde by’ebintu ebirala ebisobola okukuviirako okufuna obuzibu ku maaso. Ensenke ku maaso, eno yeetaaga okukulongoosa, era osobola okuddamu n’olaba bulungi. Bw’obeera n’ensenke, ku maaso go kubeerako ekifu.

Puleesa y’amaaso emanyiddwa nga “glaucoma”, etta obutoffaali obuvunaanyizibwa ku kukwata ekitangaala mu liiso omuntu n’asobola okulaba obulungi. Eky’ennaku, ku butoffaali buno bwe kubeerako obufa, bwo obeera obufuuye mu ηηombe, kuba abasawo tebasobola kubuzza ngulu.

Obulwadde bwa ssukaali, nabwo busobola okuviirako amaaso go okwonoonekera ddala n’otaddiramu ddala kulaba.

Enva Endiirwa Kye Kimu Ku Biriisa Ebiyamba Am.aaso

Enva Endiirwa Kye Kimu Ku Biriisa Ebiyamba Am.aaso

Okugendanga mu ddwaliro okwekebeza amaaso waakiri omulundi gumu buli mwaka kikulu ddala, ne bw’obeera olaba tewaliiwo nkenyera yonna ku maaso go.

Omukugu mu by’endiisa (Nutritionist), ku ddwaliro e Nsambya, Mary Jackie Nanyonjo, agamba, okulyanga emmere erimu ekiriisa kya “Vitamin A”, nga “Carrot”, ensujju, wamu n’ebibala ng’emicungwa, mangada n’ebirala, birungi nnyo mu kuriikiriza amaaso g’omuntu ne gabeera malamu bulungi. Wabula nti, n’ebivaavava nga nakati, doodo, n’ejjobyo, nabyo bikola omulimu gwa ttendo mu kuyimirizaawo amaaso g’omuntu.

 

Tags:
Ebyobulamu
Asiika oobulamu
Beera mulamu