TULAKITA ezikola enguudo n’ebintu ebirala ebizitowa ate nga bigazi okubisaabaza okubiggya mu kifo ekimu okudda mu kirala olina kusooka kufuna lukusa.
Ali Gitta, Ssentebe w’abaddukanya tukalita ezisenda n’okukola enguudo n’ebintu ebirala ebizito agamba nti, mmotoka zino okuzisaabaza oteekwa okuba ne layisinsi ey’enjawulo (Special permit).
Emmotoka eteekwa okuba nga yeekebejjebwa ng’esobola okutikka. Erina okuba n’enkoba ezisiba ebiba bitikkiddwa.