Emboozi

Asiika Obulamu; Okugema omwana okusooka okuwonya omwana endwadde

EBBEERE. Omwana yenna oluzaalibwa n’akaaba olumussa ku bbeere ng’asirika era ng’ayonkaawatali kusooka kumulagirira kya kukola.

Maama ng’ayonsa omwana we.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EBBEERE. Omwana yenna oluzaalibwa n’akaaba olumussa ku bbeere ng’asirika era ng’ayonkaawatali kusooka kumulagirira kya kukola.

Amabeere mmere ate ddagala erisinga eri omwana naddala nga yaakazaalibwa. Singa maama azaala bulungi, abasawo balagira nti, mu ssaawa esooka alina okussibwa ku bbeere lya nnyina n’ayonka amabeere ago agasookera malungi ddala kuba gajjudde ebirungo ebikola nga eddagala eri obulamu bwe emirembe gyonna.

Amabeere gano tegabeera nga gano aga langi enjeruyeru getulaba oluvannyuma lw’ekiseera ng’ayonka, wabula gabeera ga kyenvu nga matono ddala era bamaama bangi bagamba nti,temuli mabeere ga kuyonsa mwana oba amabeere tegannajja, nga tebamanyi nti ago agabaamu lye ddagala ly’asinga okwetaaga era ly’atalina kusubwa omubiri gwe gusobole okwegema eri endwadde ezandimutawaanyizza mu bulamu.

Ng’ensi yonna ekuza wiiki y’okuyonsa etandika nga August 1-8, omulamwa ogwassiddwaako essira gwa kulaba nga bamaama bayonsa abaana olw’entandikwa ennungi mu bulamu.

Dr. Hanifah Namala Ssengendo, omusawo w’abaana era akulira ekitongole ky’abaana n’abavubuka ku Platinum Specialist Hospital e Wandegeya, annyonnyola nti, okuyonsa kutandikira mu bwongo y’ensonga lwaki omukyala alina okukyagala amabeere gasobole okujja mu bungi obwetaagibwa omwana.

Omwana amangu ddala nga yaakazaalibwa mu ssaawa nga emu alina okufuna ekyokulya eky’amabeere. Amabeereagasooka gabeera ga kyenvu era galimu ssukaali n’ebirungo ebiyamba omwana obutafuna ndwadde amangu ddala nga yaakazalibwa.

Kino kisaanye okukolebwa ku buli maama abeere ng’azadde bulungi oba mu ngeri endala singa abeera asobola.

EMIGASO GY’OKUYONSA OMWANA

  • Okuyonsa kwe kugema kw’omwana okusookera ddala nga yaakazaalibwa y’ensonga lwaki abasawo balagira ayonsebwe wakati w’emirundi 8 ku 12.
  • Amabeere galimu abaserikale abateeka akabubi ku byenda by’omwana okumutangira okufuna endwadde n’okukose bwa embeera gy’abeera tamanyidde ng’akyaliira munda.
  • Okuyonsa kugonza olubu to omwana n’afuluma bulungi awatali kukaluubirirwa bucaafu obwo obusookera ddala obubeera obuddugavu.
  • Okuyonsa omwana kimuyamba obutafuna nkaka oba obulwadde bw’akamuli obuleeta kyenvu mu maaso n’omubiri, era abazaalibwa nga bamulina batera okubagamba okumwanikako mu kasana akasooka n’akakawungeezi.
  • Omwana afuna ssukaali amumala mu mubiri singa omuyonsa bulungi kubanga amuggya mu mabeere.
  •  Okuyonsa kuyamba omwana okufuna amazzi agamala mu mubiri gwe ebiriisa byonna ne bisobola okubuna omubiri.
  •  Amabeere gayamba omwana okufuna obusimu obukuza omubiri gw’omwana n’asobola okukula obulungi nga takonzibye mu ngeri yonna.
  •  Amabeere galeeta ebbugumu erimala eri omubiri gw’omwana ne kimuyamba obutafuna ndwadde zeekuusa ku mpewo oba obunnyogovu.
  • Okuyonsa kuleetawo omukwano wakati w’omwana ne nnyina olw’akabugumu akabeerawo wakati waabwe.

Era maamaakubirizibwa okwogera n’omwana we ng’amutadde ku bbeere, okumuweeweeta, okumukebera okulaba nga talina buzibu bwonna ku mubiri gwe.

BIKI BY’OLINA OKULYA OKUFUNA AMABEERE AGAMALA OMWANA

1 Omukyala ayonsa ateekeddwa okulya emmere ereeta amaanyi nga akawunga, omuceere,

lumonde, muwogo, akalo kuba buli lw’oyonsa okozesa maanyi wadde nga tekirabika na maaso.

2 Lya emmere eyamba okuzimba omubiri, okuyamba ggwe nga maama wabula ate n’omwana kubanga ebiriisa bino omwana abifunira mu mabeere.

Emmere ezimba omubiri kuliko;amata, amagi, ennyama, ebyennyanja, enkoko n’endala.

3 Omukyala ayonsa alina okulya ebibala eby’enjawulo n’enva endiirwa omuli; emiyembe, emicungwa, amapeera, ennaanansi, wootameroni, doodo, nnakati,ensugga, embogga, entula, n’ebirala. Bino biyamba maama okufuna amabeere agamala.

Dr. Namala akubiriza bamaama okuwummula ekimala n’okuyonsa ennyo abaana naddala mu myezi omukaaga egisooka awatali kumuliisa kintu kirala kyonna kisobozese omubiri

okuzimba abaserikale b’omubiri.

Obuyonjo nakyo kintu kikulu buli lw’ogenda okuyonsa okuziyiza omwana okukwatibwa endwadde oba yinfekisoni.

Tags:
EBBEERE
ebikola
Okuyonsa
omwana