KU Ssande eno nga August 23, 2026, Omusumba Patience Rwabwogo era muwala wa
Pulezidenti Museveni, lwatuuziddwa ku bwa Bishop, ku kkanisa ya Covenant Nations
Bukedde yatudde n’Omusumba Patience Rwabwogo, n’ayogera ku lugendo lw’emyaka 20
Bye yannyonnyodde, omusasiwa Bukedde LAWRENCE KIZITO abikuleetedde bw’ati.
Wawulira otya nga bakuwadde obwa Bishop?
Bwe twali mu lukung’aana lw’enjiri olwa Light Up Uganda Mission e Kololo, Bishop LaDonna Osborn yabeeranga ang’amba nti ayagala kwogera nange alina ekintu ky’ayagala okung’amba okutuusa olukung’aana bwe lwaggwa.
Yajja mu maka gaffe ne tulya naye ekyeggulo n’omwami wange Odrek Rwabwogo. Wano we yang’ambira nti ekintu obwedda kye mpulira nga njagala okukugamba kiri nti, obudde bwa Katonda butuuse olinnye eddaala ofuuke Bishop. Twasannyalala kubanga twali tetukisuubira, era ne tukiwakanya nga tugamba nti tetwagala bitiibwa.
Kyokka bwe yali agenda yang’amba nti ekintu ekyo nsigale nga nkisabira. Mu bbanga lya mwezi mulamba, nali sikirowoozaako kubanga n’okufuuka obufuusi omusumba kyatwala ebbanga ddene nze okukikkiriza.
Wabula lumu mba ndi mu kusaba, Katonda n’ayogera nange n’ang’amba nti lwaki olowooza nakusindika okuyita Bishop LaDonna okujja mu Uganda? Namuddamu
nti okusabira eggwanga, n’okubuulira abantu enjiri. Yanziramu nti kituufu naye era nali
mmusindika n’ewuwo ng’omuntu era obubaka bwe yakuwa bwava wange era togezaako kukirwanyisa.
Awo we nakkiririza, era ne nkubira Bishop LaDonna ne mmugamba nti nzikirizza okufuuka Bishop oluvannyuma lw’okwogera ne Katonda.
Katonda yakuyita ddi mu buweereza era olugendo lw’okumuweereza lubadde
lutya?
Katonda namuwa obulamu bwange ku myaka 11, naye nali sisuubira nti ndibeera buweereza. Nali mmanyi nti waliwo ekika ky’abantu Katonda b’akozesa nga ba Festo Kivengere, Billy Graham, Paasita Osborn n’abalala nga ndowooza nti Katonda tasobola kunnonda. Mu 2005, Katonda yatandika okumpita era n’atandika okundaga okwolesebwa
ku Africa.
Nalwawo okukkiriza okukola omulimu gwa Katonda nga ndowooza nti abamuweereza balina kuyita mu matendekero ga seminaaliyo. Naye bw’otambula ne Katonda ng’omutya, obeera olina okumugondera.
Oyinza okutwala obudde nga weebuzaabuza naye omala n’omugondera kubanga ye Katonda wo. Era mu mbeera eyo, obudde bwonna oba olina okubuwaayo mu mirimu gye, ebirala n’obivaako.
Emyaka 20 gy’omaze mu buweereza, kiki ky’oyinza okugamba nti kye kyaleetawo enjawulo mu kukula kw’ekkanisa ya Covenant Nations Church?
Ekkanisa eno yatandika ntono ng’erimu abantu ba ffamire na mikwano naye kati ekuze okusukka awo. Siyinza kugamba nti, waliwo ekyabaawo ne kikyusa ekkanisa eno. Kulwange ng’omuweereza wa Katonda, nakimanya nti Katonda bw’akuyita abeera akuyise okumuweereza obulamu bwo bwonna.
Mu kutandika nali mmanyi nti nja kukikolako katono nga bwe nkola ebirala naye si bwe kiri. Nnina we natuuka ne ndeka ebirala, essira ne nditeeka ku buweereza okutuusa olwaleero.
Mitendera ki omuntu mw’ayita okubeera mmemba w’ekkanisa eno?
Ekkanisa eno eringa endala zonna era nzigule eri buli muntu. Tulina amatabi mu bitundu eby’enjawulo era bw’eba ekuliraanye, genda osabe teri ajja kukuziyiza. Buli omu tumwaniriza.
Ekkanisa erina buvunaanyizibwa ki mu nkulaakulana ya Uganda ne Africa okutwaliza awamu?
Nzikiriza nti Katonda ayagala ekkanisa ebeere nsaale mu kukyusa ensi. Bw’ojjukira ekiseera olukalu lwa Bulaaya bwe lwali mu kizikiza eky’omwoyo, Katonda yayolesa Martin Ruther, n’atandika omugendo ogwakyusa Bulaaya n’ensi yonna. Mu kiseera ekyo, abantu baali balowooza nti bw’oba owaayo ekiweebwayo mu ssinzizo, nga wejjusa ebibi, ng’ojjumbira essinzizo, ng’osoma essaala, obeera ojja kugenda mu ggulu.
Naye Martin Ruther bwe yasoma Bayibuli n’azuula nga bingi ebyali bikolebwa mu bukyamu, wajjawo akayuuguumo era ensi n’ekyuka nnyo. Kino kiraga nti enkyukakyuka esibuka mu kkanisa era etandika na kigambo kya Katonda. Ekigambo bwe kiba kibuulirwa bulungi, kireetawo enkyukakyuka mu nsi. Abaddugavu bwe baali batulugunyizibwa mu America, Katonda yasitula Martin Ruther King Jr. eyali omusumba n’atandika okugamba ku bazungu nti tosoba kuba Mukristaayo ate ng’otulugunya bantu banno.
Kyaleetawo enkyukakyuka ekyongera okulaga nti ekkanisa bw’eba ebuulira ekigambo, enkyukakyuka ebeera ejja kujja mu Uganda, Africa ne mu nsi yonna.