JUSTINE Nayiga Katushabe omulimi wa kasooli e Mubende yatandika okulima kasooli nga mu 2002 oluvannyuma lw’okutuula S4 ssente ezimwongerayo ku A-level ne zibula ng’apangisa ettaka kwe yalimiranga.
ku ffaamu gye zaamuyamba okusitula amakungula n’ennyingiza ekikyusizza obulamu bwe ne ffamire.
“Ng’osobola okussaamu nga 300,000/- okuva ku kabala, okukoola, okukungula, okukongola n’ebirala eby’okulabirira omusiri gwa yiika kyokka n’okungulamu kkiro nga
800 ate nga n’ebbeeyi eri wansi kuba oluusi baatugulanga ku 300/- olwo n’ofuna 240,000/-.
Nayiga agamba nti mu 2013 bwe yatandika okulima kasooli nga bizinensi ng’asomeseddwa ebibiina eby’enjawulo okwali Kilimo Trust mu nnima entuufu okutandika n’okugula ensigo, okukozesa ebigimusa n’ebirala amakungula geeyongera nga kati asobola okufuna ensawo 25 nga zizitowa kkiro 100 buli emu.
“Okukolagana ne Kilimo Trust kyannyamba kuba nasobola okufuna ssente mu bulimi bwa kasooli ne nsobola n’okwezza mu kusoma nga leero nnina diguli y’Obusomesa era ndi mukulu wa ssomero.
Mu ngeri y’emu neeyunga ku bitongole ne kkampuni ezitali zimu nga leero natandikawo amaduuka agatunda ebikozesebwa mu nnimiro ng’eddagala, ebigimusa, bbomba n’ebirala.
Kino kimu ku biremesa abalimi okwekulaakulanya kuba buli kiseera batambulira mu kufiirizibwa.
Paul Mwambu kaminsono w’ebirime mu minisitule y’obulimi, obulunzi n’obuvubi agamba nti abalimi basaanira okukimanya nti okukozesa ensigo ennongoseemu kyokka kisobola okusitula amakungula okutuuka ku bitundu nga 40 ku 100.