OMUVUUVUUMIRA oba abamu gwe bayita omucuula muti gwemeza gwokka ate nga
gusobola okusimbibwa. Omuti guno guteekako obukoola bungi obwa kiragala n’ebimuli ebya kyenvu n’ebibala ebiddugavu era we gubeera watera okubeerawo
ebiwuka ebiddugavu.
Dr. Kizito Nsubuga, omunoonyereza ku mmere, n’emiddo annyonnyola ku muvuuvuumira.
Mu Ssaayansi guyitibwa ‘senna alata’ nga guva mu kika kya ‘caesalpiniodeae’. Mu Lungereza guyitibwa Candle bush, naye nga gulina amannya

Omuvuuvuumira
Omuvuuvuumira gulimu ebirungo bya Tannins,saponins, terpenoids, alkaloids, glycosides
n’ebirala bingi ebigufuula okubeera eddagala ery’amaanyi eri obulamu bwaffe.
- Liyamba ku muntu atasobola kusiba musulo bulungi naddala mu basajja abakuze mu myaka.
- Fumba emirandira n’ebikoolaonyweko ekitundu ky’ekikopo emirundi ebiri olunaku.
- Liyamba ku muntu alumizibwa omugongo.
- Liyamba ku bulwadde bwasiikoseero.
- Litta enjoka z’omu lubuto. Fumba ebikoola ogattemu ne kattaddogo abaana obaweeko ekijiiko kimu buli lunaku.
- Liyamba okuggya obucaafu n’obutwa bwonna mu mubiri.
- Liyamba omuntu alina enkaka naddala mu bantu nga ekibumba kirina obuzibu. Fumba onywengako.
- Liyamba ku bulwadde bwa ssukaali.
- Lisala omugejjo nga likendeeza amasavu amabi. Kola ensaano onywe ku caayi buli lunaku.
- Lizimba abaserikale b’omubiri abaguyamba okulwanyisa endwadde ezigulumba.
- Omuvuuvuumira guyamba ku mutwe oguluma mu buli ngeri. yenga ebikoola onaabenga mu mutwe.
- Abaana abameketa amannyo. Fumba ebikoola n’emirandira obawengako ekijiiko emirundi ebiri olunaku bajja kutereera.
- Litangira kookolo owa buli ngeri singa okola ensaano n’oginyweranga ku caayi.
- Lyoza bulungi ekyenda naddala mu bantu abaagala okweyoza nga tofuluma bulungi oba n’abalya ennyo ebisiike.
OKWEGENDEREZA
Abalwadde b’omutima, ensigo tebasaanye kweyambisa ddagala lino nga tebalabye basawo. Bw’okozesa eddagala eringi liyinza okuddukanya oba okutumbiiza olubuto.