OMUSUMBA w'ekkanisa y'abalokole eya Evangelist of christ believers e Rukungiri, Alfred Mugarura ategeezezza nga Katonda bwe yamwolesezza ensonga 10 ku kudda kwa Yesu kunsi omulundi ogw'okubiri
Mugarura bino yabyogeredde ku kusaba kwa ssande ewedde n'ategeeza nti yayogedde ne Katonda n'abaako ensonga z'amubuulira.

Musumba Alfred Mugarura ng'abuulira
Okusinziira ku musumba Mugarura, okwolesebwa kuno yakufunye mu nnaku z'okusiiba nga kugatta ku kwolesebwa kwe yafuna mu 2010 ng'asoma ku Yunivasite e Makerere.
"Erinnya lyange erya Mugarura litegeeza okuyitibwa ate Alfred ne litegeeza okukomyawo. Mubufunze erinnya lyange litegeeza okukomyawo Yesu." Mugarura bweyayongeddeko.
Ensonga 10 Mugarura zagamba nti zamwoleseddwa kukudda kwa Yesu kuliko
Okukkiriza kwe yafuna mu 2010 nti gwe mwaka ogwali ogw'okutandikirako okwambala necktie, ekintu kyeyallintakola ngako.
Yagambye nti bweyali asoma e Makerere mu 2010, yategeera ku paasita Samuel Kakande era natandika okusabira eyo.
Oluvannyuma yasalawo okugenda e Rukungiri okulya paasika gye yafunira okwolesebwa ku bizinensi ki gye yali alina okukola ku ssente emitwalo 3 gyeyali yewoze ku munne Abraham.
Mugarura nti yafuna okwolesebwa okuva ewa Katonda okugula bayibuli gye yagula ku sh. 25000/=.
Mugarura agamba nti bweyali e Makerere, mwoyo mutukuvu yamulagira okuva weyali atudde emabega mu lecture room okudda mumaaso era nawandiika ku lubaawo olwelu erinnya lye "Alfred" nagattako ekigambo "A Friend " ne
Yagamba bayizi banne nti yali agoberera kiragiro kya Katonda ekya
Mugarura: To Bring Back; Mugarura Alfred: To Bring Back Jesus.

Musumba Mugarura ng'abuulira
Mugarura yalaze ensonga endala okuli okumanya n'okwogera ekituufu, ekitangaala ekigenda okubikka Africa nga kisibuka Kigezi.
Okwolesebwa okulala Mugarura agamba nti yafuna omukisa eri Yesu mu 2010 bweyafumuwa omukisa ng'ali n'abayigirizwa n'amulaga nti akyali Yesu w'omulembw guno era agenda kukomawo mangu.
Empeta yobukulembeze ku lugalo.olw'okuna ku mukono gwa ddyo Mugarura agamba nti Katonda yajjako yokka mu 2023 era yagezaako okujijjalo negaana.
Mugarura era agamba nti olunaku lwe yazaalibwa era lwelunaku lwe lumu aba Yisirayiri lwe baava mu Egypt ate nga lwe lunaku Yesu lwe yafa ku musalaba.
Mukitabo ky'okubala 33:4, walaga olunaku olwe 15 olw'omwezi ogudooka Abayisirayiri lwe baava e Egypt nga badduka obuddu.