Emboozi

Abapangisa emmotoka babawadde obukodyo bw’okusigala mu bizinensi

Abali mu mulimu gw’okupangisa emmotoka beevuma amafuta ne ddoola ebirinnya buli lukya nga bagamba nti bikosezza nnyo bizinensi yaabwe. Okuva amafuta bwe gaatandika okulinnya, bano bagamba nti amagoba gaabwe gaakendeera kyokka nga balina okusasula abakozi, emisolo n’emisoso gya bizinensi emirala nkumu.

Aba Mercantile car rentals nga bajaguza okuweza emyaka 15 mu bizinensi
By: Prossy Nandudu, Journalist @New Vision

Abali mu mulimu gw’okupangisa emmotoka beevuma amafuta ne ddoola ebirinnya buli lukya nga bagamba nti bikosezza nnyo bizinensi yaabwe. Okuva amafuta bwe gaatandika okulinnya, bano bagamba nti amagoba gaabwe gaakendeera kyokka nga balina okusasula abakozi, emisolo n’emisoso gya bizinensi emirala nkumu. Kino bagamba nti kireetedde bannaabwe bangi okuli ne kkampuni ennene okuva mu mulimu guno kyokka nga guwa abavubuka bangi emirimu n’okutambuza abakungu omuli n’abava ebweru. 
Ye Lavigerie Nkurunungi akulira kkampuni ya Mercantile Car Rentals akubiriza abali mu mulimu guno okwettanira emmotoka z’amasannyalaze ezikozesa ttekinologiya owoomulembe. Zino agamba nti ziyamba okutambuza bizinensi naddala mu kiseera kino eky’akatuubagiro k’ebyenfuna. 

Nkurunungi awa abapangisa emmotoka okwettanira ez'amasannyalaze

Nkurunungi awa abapangisa emmotoka okwettanira ez'amasannyalaze


“Emmotoka ezo tezikwetaagisa kulinnyisa bisale nga bwe kibeera ng’amafuta galinnye,” bw’agamba. Bino Nkurunungi yabyogeredde ku mukolo gw’okujaguza kkampuni ye okuweza emyaka 15 mu mulimu gw’okupangisa emmotoka. Omukolo gwabadde ku kitebe kyabwe e Muyenga mu Kampala.
“Tuyita mu kusoomoozebwa kungi buli ddoola n’amafuta bwe birinnya.” Ayongerako nti kino  kibakakatako nabo okulinnyisa ebisale oluusi ekikosa bizinensi.
“Tuli mu nteekateeka okudda ku mmotoka z’amasannyalaze ezomulembe olwo tuweereze bulungi bakasitoma baffe,” bw’agamba
Tags: