Bya LAWRENCE KIZITO
Omwana Rahmah Nansamba eyabula kati emyezi mukaaga egiyise yeeraliikirizza bazadde be Sarah Namusuubo ne Yasin Matovu nga kati basiiba bakulukusa maziga.

Rahmah Nansamba Eyabula.
Namusuubo agamba nti okuva olwo muwala we taddangamu kulabikako ekibatadde mu kusoberwa ng’ate n’abantu abaali bakwatiddwa omu poliisi yamuyimbula. Abazadde balumiriza nti eyayimbulwa y’asinga okumanya ebikwata ku mwana waabwe.
Namusuubo yali akolera mu katale ka USAFI ng’akongola bijjanjaalo n’enseenene ng’era akola ne muwala we ono mwe yabulira.