Imported

Ab'e Gaba balabuddwa ku kwonoona obutonde bw'ensi

ABASUUBUZI mu katale k'e Gaba basabiddwa okukomya okusuula obucupa mu mazzi ekivuddeko amazzi okwonooneka n’amataba okweyongera obungi.

Ab'e Gaba balabuddwa ku kwonoona obutonde bw'ensi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bino byabasomeseddwa ab’ekitongole kya East African Greens Federation ku ngeri gye balina okweyisaamu ku nnyanja.

Dorothy Nalubega okuva mu kitongole kino yagambye nti bakoze okunoonyereza ne bakizuula nti abasuubuzi abakolera ku mazzi gano basuula obucupa mu mazzi ekireetera n’emyala okuzibikira olwo amataba ne gasaasanira ekitundu.

Abasubuuzi b'e Gaba n'aba East African Greens Federation nga balongoosa akatale.

Abasubuuzi b'e Gaba n'aba East African Greens Federation nga balongoosa akatale.

“Obuveera n’obucupa bikoze ky’amaanyi nnyo okwonoona amazzi g’ennyanja nga kino kiva ku bantu abamala gabisuula mu nnyanja ekiretedde n’ebyennuanja okwesala olw’okuba ennyaja eba ezibikidde.” Nalubega bwe yategeezezza.

Yasabye Gavumenti eteekewo ebibonerezo ebya maanyi eri abantu abamala gasuula obucupa mu mazzi kye  yagambye nti osanga kinaakendeeza ku bantu abatafaayo kulabirira nnyanja gye bavubamu ebyennyanja.

Yasabye Gavumenti etegeke emisomo eri abantu abaliraanye ennyanja abantu basomesebwe ku ngeri gye balina okukumamu ennyanja nga nnyonjo kiyambe n’okukuuma obutonde bwensi.

Ye amyuka ssentebe w’akatale ke Gaba Aron Bazaale yategeezezza nti emyala nga gikolebwa tegyateekebwamu butimba bukwata bicupa ng’enkuba bw'etonnya ekulukusa ebicupa n’obuveera ppaka mu nnyanja.

 

“Tusaba ne kampuni ezikola eby’okunywa by’obucupa, ku musolo gwe tusasula bateekewo ebipipa buli kitundu abantu mwe basobola okuteeka obucupa kitangire okusasaana kwabo n’okutuuka okusuulibwa mu nnyanuja.” Bazaale bwe yayongeddeko.

 

Tags:
Gaba
Butonde
Basuubuzi