Hassan Kigozi amanyiddwa nga Geosteady abadde abuliride wabula nga kigambibwa nti waliwo ekiseera bwe kyatuuka ng’alabika nga avudeko.
Mbu wano abamuli okumpi baamutwalako mu ddwaliro erimu gy’abadde ajjajanjabirwa okumala akaseera.
Geo Steady In Mecca
Ono bategeezezza nti yasoose okulabibwako abayimbi bwe baagenze mu palamenti gye buvuddeko okuteesa ku nkola ya ‘Copyright’.
We yavude wano n’alinnya ennyonyi eddako era yasibidde Mecca mu mikolo gya ‘Umrah’
Eno gye yasinzidde n’ateeka obubaka ku mutimbagano obukakasa nga bw’akomyewo era nti si waakuzikiza.
Kuno yagasseeko okwebaza Katonda amuyisizza mu kaseera akazibu k’abaddemu.