OMUYIMBI Hanson Baliruno yabomba omwaka oguwedde n’agenda e Canada.
Yali agenze kuyimba mu kivvulu ekimu ne Nina Roz wabula ye Baliruno, n’alaalira asobole okugatta obulamu.
Baliruno N'omuzungu
Twabadde tuli awo n’awanika ekifaananyi kye ku mutimbagano ng’ali n’omukyala Omuzungu ng’alaga nti obulamu butambula.
Nga bw’omanyi abantu, era abamu baamukulisizza abalala ne bamulangira nga bw’abala empapula z’obutuuze anti ng’afunye omukyala Omuzungu gw’awasizza.
Hanson we yabombera nga eby’okuyimba alinga abiwummuzzaamu era ng’ebiseera ebisinga abimala ku ekitebe ky’abayimbi abakulemberwa Eddy Kenzo e Mutungo.