OMUYIMBI Shakira Shakira asambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw’okukutula ddiiru n’omubaka Justin Nameere.
Ddiiru eno ebalirirwamu obukadde bwa ssente, ya kwambaza mubaka ono naddala ku mikolo egimalayo. Omanyi Shakira eby’okuyimba agenda abivaako era yatandika n’edduuka mu kibuga eritunda engoye z’abakyala.
Ababeera okumpi ne Nameere bagamba nti, bukya asemberera Sipiika Anita Among ebintu byakyukira ddala. Mbu kati alinamu ku ttooke era emabegako awo yagula n’ennyumba e Kigo era n’akyusa n’emmotoka kati avuga