ABAANA abalina talenti mu kuyimba, okuzina ne katemba, bawaga kulaga bawagizi
baabwe bukodyo bupya.
Maneja waabwe, William Kaggwa amanyiddwa nga Coco Man agamba nti abamu ku bo, bamulekwa era mu talenti, mwe bafuna ffiizi ne ssente ezibalabirira. Yabakolera ekibiina mwe balagira kye balinawo era be yasanga nga tebasoma yatandikawo essomero, mwe yabassa babangulwe mu by’ekibiina nga bwe bakulaakulanya ekitone kyabwe. Ayongerako nti mu kitone, mwe baggya eza ffiizi newankubadde mu lusoma olusooka n’olwokubiri, bafuna okusoomoozebwa olw’emirimu negiba emitono nga n’ensimbi ze bafuna ziba ntono. Bazinira mu bivvulu n’obubaga