EBYABADDEWO ku Lwomukaaga oluwedde nsaba Mukama ebimpugule nneme kutuuka ku ssa lya kuwagira kisusse nga bwe kyeyolese mu mikwano gyange abawagira Arsenal.
Omanyi nga ku wiikendi eri eyaggwa bwe bampita mbabugirize nga Arsenal esitula ekikopo kya Premier, ne ku Lwomukaaga luno bampise mbeerewo ku fayinolo ya Champions League nga ttiim yaabwe bubeefuka ne PSG. Neera twakasibidde Bukoto
Byonna, omupiira nga bwe gwatambudde abasinga mwabitegedde n’okubyerabirako wabula nem bitabuka ku peneti eyasembye nga bali mu busaale oba ziyite entegeka! Guy luli eyampa doola 400 ng’akasiimo k’okunkalakata ku lwe baasitula ekya Premier ate mulowooza puleesa tezaamukubye era n’ayisibwa bubi ddala.
Yabadde anninaanye nga nnamwekanze angwiira ate ng’assa bubi. Nnayise banywanyin bwe twabadde ku mmeeza ne tumuyoolayoola okumuddusa mu ddwaaliro. Twabadde tukyalinda ng’abasawo bwe bamuwa obujjanjabi, waliwo omukyala eyazze era bw yabuuzizza omwami gwe nnabadde naye nti ‘Ddadi bamutadde wa?’’ nnategeereddewo nti kirabika ye ‘Madame’ era saabadde mukyamu. Mmotoka twatambulidde mu ya mwami ono gwe twabadde naye nga ye Bob. Omukyala bwe yeegattiddwaako aba ffamire kwe kusaba Bob ‘twesikemu’. Bob naye yabadde ng’agamba nti kakubye kuba okuva lwe twasimbudde ku ddwaaliro yatandise okuntokota ng’agamba nti nnandimukoledde ekisa ne mmunaazaako amaziga ga ttiimu ye okusubwa okusitula