Ssenga

Mikwano gyange situleesi y’omupiira yabasusseeko ne bantabukako

EBYABADDEWO ku Lwomukaaga oluwedde nsaba Mukama ebimpugule nneme kutuuka ku ssa lya kuwagira kisusse nga bwe kyeyolese mu mikwano gyange abawagira Arsenal.

Sandra MUNNAKIBUGA
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EBYABADDEWO ku Lwomukaaga oluwedde nsaba Mukama ebimpugule nneme kutuuka ku ssa lya kuwagira kisusse nga bwe kyeyolese mu mikwano gyange abawagira Arsenal.
Omanyi nga ku wiikendi eri eyaggwa bwe bampita mbabugirize nga Arsenal esitula ekikopo kya Premier, ne ku Lwomukaaga luno bampise mbeerewo ku fayinolo ya  Champions League nga ttiim   yaabwe bubeefuka ne PSG. Neera twakasibidde Bukoto

gye twali luli era twatandikidde mu vayibu Arsenal bwe yakedde okuteeba.

Byonna, omupiira nga  bwe gwatambudde abasinga mwabitegedde n’okubyerabirako wabula nem bitabuka ku peneti eyasembye nga bali mu busaale oba ziyite entegeka! Guy luli eyampa doola 400 ng’akasiimo k’okunkalakata ku lwe baasitula ekya Premier ate mulowooza puleesa tezaamukubye era n’ayisibwa bubi ddala.
Yabadde anninaanye nga nnamwekanze angwiira ate ng’assa bubi. Nnayise banywanyin bwe twabadde ku mmeeza ne tumuyoolayoola okumuddusa mu ddwaaliro. Twabadde tukyalinda ng’abasawo bwe bamuwa obujjanjabi, waliwo omukyala eyazze era bw yabuuzizza omwami gwe nnabadde naye nti ‘Ddadi bamutadde wa?’’ nnategeereddewo nti kirabika ye ‘Madame’ era saabadde mukyamu. Mmotoka twatambulidde mu ya mwami ono gwe twabadde naye nga ye Bob. Omukyala bwe yeegattiddwaako aba ffamire kwe kusaba Bob ‘twesikemu’. Bob naye yabadde ng’agamba nti kakubye kuba okuva lwe twasimbudde ku ddwaaliro yatandise okuntokota ng’agamba nti nnandimukoledde ekisa ne mmunaazaako amaziga ga ttiimu ye okusubwa okusitula

ekikopo.
Yambuuzizza kye kyetaagisa ne ngezaako okumuwugula mmuzze ku by’eyakubiddwa puleesa olwo nga bw’angumya nti ajja kubeera bulungi. Emmotoka bwe yagivuze yasibidde ku wooteeri ng’agamba nti tweweemu nga tetunnaddan waka. Bannange Bob yannemeddeko nga buli ky’ayogera akisiiga kasukaali.n Mumanyi Bob okutuuka mu kisenge nga ‘Mutaka’ alebera bulebezi. Nnatandise okwebuuza ebibuuzo nti oba naye omupiira gwe gwamumazeemu amaanyi kuba muwagizi wa Arsenal oba be bano bansindika njake be bayitira ‘Kukumanga’ okubazzaamu
embavu. Bob naye yalabise ng’atabuddwa n’atandikwa okwesooza, bwe

Tags: